Bya Samuel Stuart jjingo
Bugembe – Busoga
Obwakabaka butenderezza nnyo obuyiiya n’obukulembeze bw’Omulabirizi w’e Busoga Rt. Rev. Prof. Grace Lubaale bwalaze mu bbanga ettono lyakulembeddemu obulabirizi buno.

Bino byogeddwa Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Omuwanika w’Obwakabaka Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, bw’abadde yetabye ku mukolo gw’okukungaanya ensimbi z’okuzimba ennyumba y’Omulabirizi w’e Busoga oguyindidde ku Christ’s Cathedral e Bugembe mu Busoga.
Oweekitiibwa Waggwa asiimye nnyo Omulabirizi Grace Lubaale olw’obuyiiya, obuvumu, ebirowoozo n’obukulembeze obulungi, okusalawo okuzimba ennyumba y’Obulabirizi esookedde ddala mu bulabirizi buno.

Oweekitiibwa Nsibirwa agamba nti yakwatibwako nnyo olugendo lw’Omulabirizi olw’okuzimba ennyumba eno bw’atyo akunze abantu bonna okwenyigira mu nteekateeka eno okumaliriza ennyumba eno esigaddeko okuteekamu endabirwamu, amataala, kaabuyonjo n’ebintu ebirala olwo agiyingire.
Ye Omulabirizi Grace Lubaale, nga ye Mulabirizi ow’Okubiri okukulembera obulabirizi bw’e Busoga, agamba nti Obulabirizi buwangadde emyaka mingi nga tebulina nnyumba ya Mulabirizi, kwe kusalawo okutandika omulimu guno.
Oweek. Waggwa awerekeddwako Omubaka wa Kabaka e Busoga, Oweek. Jane Nakiyingi n’Omumyuka we Mw. Moses Ssenyonjo n’abantu abalala.
