Bya Samuel Stuart Jjingo
Kaliisizo- Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde abavubuka obutatya bufumbo n’okwewala okwagala ebyobugagga eby’amangu.
Kamalabyonna wa Buganda okuwabula kuno akukoledde Kaliisizo mu Buddu gye yetabye ku bijaguzo eby’emyaka 50 egy’obufumbo bw’eyaliko Pookino Owek. Vincent Mayiga ne mukyala we Rosemary Bella Namutosi Mayiga.

“Obutitizi n’okwagala ebintu eby’amangu ky’ekyogeza abantu, naddala abavubuka, amafuukule ku bufumbo. Tewali kyangu mu bulamu, kyokka abafunvubira basobolera ddala okuwangula” Katikkiro Mayiga.
Owoomumbuga agamba nti tewali Kintu kyonna muntu ky’ayinza kutuukako n’awangula okuggyako ng’agumiikiriza oba ng’akozesa bumalirivu. Ategeezeza nti ebintu byonna bizibu era abo abaguumiikiriza basaana kwebaza, bwatyo yebazizza abajaguza olw’okugumiikirizigana.
Owek. Mayiga akubirizza abafumbo okukuliza abaana baabwe mu maka omuli empisa ennungi ez’obuntubulamu kibayambeko okwezimba mu biseera eby’omumaaso. Ategeezeza nti okwolesebwa kw’Obwakabaka okw’okuzza Buganda ku Ntikko kiteegeza abantu baayo okugyeyagaliramu; nga tewali atyobola buwangwa na nnono zaabwo, nga balina amazzi amayonjo, nga abaana basoma, nga abantu balina emere, nga Ssaabasajja Kabaka abantu bamutegera, era bino byonna biva mu kuteekateeka bulungi baana.
“Abantu okutuuka ku myaka 50 mu bufumbo, ne bazaala, ne bagunjula abaana, ne baweereza mu mitendera egy’enjawulo babeera batadde ettofaali ddene ku kaawefube w’okuzza Buganda ku ntikko.” Katikkiro Mayiga. Agamba nti mu Buganda, obufumbo nsonga nkulu nnyo kubanga amaka amateefu gesigamye ku bufumbo obunywevu.
Msgr. Dominic Ssengooba, nga y’akulembeddemu ekitambiro ky’emissa ku lwa Bishop Serverus Jjumba, atenderezza Oweek. Vincent Mayiga olw’okukola omulimu gw’obwa Pookino obulungi, okuweereza Katonda nga yenyigira mu mirimu gy’ekeleziya, ate nga musajja mwesigwa. Agamba nti bino bimwoleka ng’omusajja omuvumu ddala era asiiga ekifaananyi ekirungi eri abalala.
Oweek. Vincent Mayiga awamu ne mukyala we Rosemary Bella Namutosi Mayiga bazeemu okukuba ebirayiro okubeeragana, era abantu ba Katonda abakuŋŋaanidde mu Eklezia y’Omutukuvu Andereya e Matale, Kaliisizo basabidde ababiri bano obuwangaazi.
Bano bafunye n’obubaka okuva ewa Paapa Leo XIV nga abakulisa okutuuka ku kkula lino.
Abasaserodooti ab’enjawulo abakulembeddwamu Msg. Dominic Ssengooba, Eyaliko Omumyuka w’Omukulembeze w’eggwanga HE. Edward Kiwanuka Ssekandi, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, abaami Abaamasazza awamu n’abawumula n’abantu abalala bangi betabye mu kusaba kunno. Oluvannyuma abajaguza basembezza abagenyi baabwe ku Nabisere Hotel okubagabula n’okusanyukira wamu nabo.