Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo

Abantu ba Buganda okuva ggombolola 8 ez’enjawulo mu masaza; Ssingo, Kyaggwe, Butambala ne Bugerere wamu n’abalungamya be mikolo n’abatabuzi b’endongo ku mikolo bakiise Embuga n’oluwalo lwa olusobye mu bukadde 20 omugatte.
Ku lwa Katikkiro, Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika y’atikudde oluwalo luno era mu bubaka bwe essira alitadde ku bbugumu ly’ebyokulonda eririwo mu ggwanga.
Oweek Bwanika asabye akakiiko k’ebyokulonda okukozesa obwenkanya obulabibwa buli munnansi, ng’annyonnyola nti buli lwe wabulawo obwenkanya wabaawo obutali bumativumu balonzi, bwatyo asabye Bannayuganda okugatta eddoboozi ku kusaba akakiiko k’ebyokulonda obwenkanya okuberaawo mu kulonda, eggwanga libeere mu mirembe.
“Tetulina kutiiririra ddembe lyaffe ery’obwebange eriri mu ssemateka kale turirwanirire ekiseera kyonna’ Owek. Bwanika.Ssaabawolereza
Ssaabawolereza aliko n’obubaka bw’atisse abaluŋŋamya b’emikolo; abasabye okwongera okubunyisa olulimi oluganda kyokka kino abasabye okukikola nga bayita mu kusoma ebitabo basobole okubunyisa ebyo byokka ebituufu ku buwangwa n’ennono za Buganda. Mu ngeri y’emu asabye abantu ba Buganda okufuba okusaasaanya amawulire gw’Obwakabaka agava ku mikutu emitongole okusobola okwewala abo abasaasanya kalebule nga benonyeza abyabwe. Annyonnyodde nti ekituufu kisobolera ddala okubuutikira obulimba singa kiba kisaasanyiziddwa.

Ye Minista wa gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki asabye abantu ba Kabaka bonna okwefumiitiriza ku kiseera ekiriwo kati eky’ebyobufuzi nga beekenenya buli kikolebwa naddala ebigambo ebyogerwa bannabyabufuzi nga bewala abo abagufudde omugano okwenonyeza ebyabwe nga batyoboola Obwakabaka mu bigambo ebitajja nsa.
Omumyuka Asooka owa Katambala Kabali Vicent Masembe annyonnyodde nti waliwo enyukakyuka erabibwako bukya Bwakabaka bubakana ne kaweefube w’okulwanyisa obwavu nga bayita mu nkola ez’enjawulo naddala mu byobulimi eya emmwanyi terimba era agamba anti abantu ba Buganda tebalina kukoma kwerwanako kulwanyisa bwavu.
Hon. Patrick Nsanja, Omubaka wa Ntenjeru South naye omu ku bakiise Embuga alaze okutya olw’okufa kw’abantu okususse mu kitundu ky’akikirira era asabye Obwakabaka okwongera eddoboozi lyabwo okusaba gavumenti okunonyereza ku ndwadde entuufu ezisanyawo Bannabugerere.