Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka nga buli wamu ne Minisitule ya gavumenti ey’ebyobulamu butongozza kaweefube w’okugaba obutimba bw’ensiri okwetoloola ebitundu bya Buganda.
Obutimba obusoba mu bukadde buna (4.7m) bwe bugenda okubunyisibwa mu maka ag’enjawulo n’ekigendererwa eky’okugoba n’okutangira omusujja gw’ensiri.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, bw’abadde atongoza enteekateeka eno ku Bulange, asabye abantu ba Buganda okugogola amazzi agatatambula ensiri mwe zizaalira, basaawe ensiko ezirinaanye ennyumba ensiri mwe zekweka, bawulirize ebibagambibwa abasawo abakugu baleme kuwuliriza abeeyita abasawo ku mitimbagano, era bakomye okwejjanjaba wabula bagende mu bakugu bafune obujjanjabi obutuufu.
Oweekitiibwa Nsibirwa asabye abantu abanaafuna obutimba buno babusulemu buli lunaku, beewale okubukozesa mu kuvuba eby’ennyanja, okubwambala, okubukozesa nga entimbe mu madirisa, wabula babusulemu ku lw’obulungi bwa obulamu bw’abwe. Akubirizza abakulembeze mu bwakabaka okukunga abantu banone obutimba bagende beetangire omusujja gw’e nsiri, bw’atyo n’asaba abazadde batwale abaana bagemebwe mu bifo omusujja gw’e nsiri mu bifo ebitongole.
Dr. Richard Kabanda, kamisona mu minisitule y’ebyobulamu, asabye obwakabaka bu bakwasizeeko mu mulimu gw’okutumbula eby’obulamu n’okuziyiza endwadde, busomese abantu omugaso oguli mu kukozesa obulungi akatimba k’e nsiri kubanga abantu balina obunafu mu kufaayo ku by’obulamu ebibeetoolodde.
Dr. Kabanda agamba eno enteekateeka ya mulundi gwa kuna, era asabye abantu bagoberere okulambika okunaakolebwa abakugu.
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ku lw’obwakabaka, asuubizza okuwa eby’obulamu eby’omutindo eri abantu ba Beene, n’akubiriza abantu ba Buganda obutasaagira mu bya bulamu kubanga omuntu omulamu y’akola ate n’okwerinda ssi buti.
Abantu 16 be bafa buli lunaku omusujja gwensiri, ate Uganda Nsi ya kusatu mu nsi yonna okufuna abantu abalwala omusujja gw’e nsiri. Abantu bano bwe bafa baleka ekiyongobero kya maanyi era kitaataaganya entambuza y’amaka.