Obwakabaka buvumiridde amasomero agalya ensimbi z’Abayizi ez’okwewandiisa

Amawulire Oct 15, 2025
Share This

Bya Kyobe JohnVianne

Bulange-Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda buvumiridde ebikolwa by’abakulira amasomero abalya ssente z’abayizi ez’okwewandiisa bwe batyo ne basubwa omukisa okutuula ebibuuzo byabwe eby’akamalirizo.

Bino byogeddwa Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’ensonga ez’enkizo mu woofisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba bw’abadde atikkula oluwalo oluleteddwa abantu ba Kabaka okuva e Kyaggwe, Butambala, Busiro, Buddu ne Diaspora ku mbuga ey’Obwakabaka Bulange Mengo.

“Ekikolwa ky’obutawandiisa bayizi kusobola kutuula bigezo tukivimirira nga Obwakabaka kubanga muba muttidde abaana ebiseera kubanga si bonna nti basobola okuddamu okusoma era nsaba ekitongole kya UNEB okwewandiisa kubeere kwa ku mutimbagano nga sente zisasulwa butereevu mu UNEB” Minisita Kiyimba bwategezeza.

Owek. Kiyimba era awanjagidde ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga okubaako emitendera gye kikyusa mu mpadiisa y’abayizi wakiri abazadde nabo bagyenyigiremu butereevu nga abasomesa kuba buli mwaka ekikolwa ky’okulyazamanya ensimbi z’abayizi ne batatuula bigezo kirabibwa.

Ye Omumyuka owookubiri owa Sekiboobo Katende Fred Kangavve nga y’akulembeddemu abakiise Embuga, yeyanzizza Maasomoogi olw’enteekateeka ez’enkulaakulana ezikoleddwa mu Bwakabaka bwa Buganda nga omupiira gwa masaza oguyunganya ennyo oluganda wakati mu bantu be.

Eggombolola ya Mituba 3 Mukungwe okuva mu ssaza Buddu y’ekulembeddemu eggombolola zonna olwaleero n’obukadde 15, obukadde 80 n’ensimbi eziggwamu bwe bukunganyiziddwa mu Luwalo luno.

LANGUAGE