Obwakabaka bwakuddaabiriza Embuga ya Kabaka Chwa Nabakka

Share This

Bya  Samuel Stuart Jjingo

Kamengo – Busiro

Obwakabaka bwa Buganda bwakuddaabiriza Embuga ya Kabaka Chwa Nabakka eyootootebwe okutuukana n’ ekitiibwa kyaayo.

Kino kibikuddwa ku Lwokuna, Omulangira Luwangula Basajjansolo Ssaalongo, Jjaaja w’Olulyo Olulangira bw’abadde alambula embuga ya Kabaka Chwa Nabakka Kato I e Kamengo Bugumya mu ssaza lye Busiro.

Kitegeerekese nti enteekateeka y’okuddaabiriza egendereddwamu okutaasa, okukuuma n’okukulakulanya, okuzzawo embuga eno.

Okusinziira ku  Minisitule y’Obuwangwa kino kijja kusikiriza abalambuzi okweyongera okumanya obuvo n’ebintu eby’enjawulo ebikwata ku Bwakabaka.

Katikkiro w’embuga ya Kabaka Chwa Nabakka, Omulangira Josephat Kakungulu, asanyukidde enteekateeka eno okusitukiramu okweyama okuyoyoota embuga eno kubanga eriko ebyafaayo bingi .

Omulangira Josephat asabye Obwakabaka okubayambako okwetakuluzaako abasenza ku ttaka kuba beesomye okulimalawo.

LANGUAGE