Obwavu Tebabusikira: Owek. Nsibirwa Atongozza Omwoleso gwa CBS PEWOSA

Amawulire Sep 12, 2025
Share This
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’alambula abamu ku boolesezza

Bya Miiro Shafik

Masaka Buddu

Ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omumyuka we Owookubiri era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa atongozza omwoleso gwa CBS PEWOSA oguyindira ku mbuga y’Essaza Buddu.

Owek. Waggwa yeyanzizza Beene olw’okutandikawo leediyo CBS, gy’agambye nti ku biruubirirwa 19 ebiri mu nnamutayiika w’Obwakabaka 2023-2028 nga ekiruubirirwa eky’omusanvu kwe kulwanyisa obunkuseere mu bantu, leediyo CBS ekikoze bulungi ng’eyita mu myoleso n’ebibiina by’Obwegassi ebya PEWOSA okugoba obwavu.

“Obwavu si bwansikirano era si bwa nnono, wabula buli muntu alina okwerwanako okubugoba awatali kwekubagiza na kwekwasa nsonga yonna” Owek. Waggwa Nsibirwa.

Owek. Nsibirwa asabye abantu ba Kabaka okuteekayo omwoyo okuyiga ebintu eby’enjawulo nga bayita mu mikisa Kabaka gy’abateerawo okugeza emyoleso, basobole okwegobako obwavu. Ono agamba nti buli muntu afube okubaako by’ayiga mu myoleso n’okugulayo ebintu naddala ebya tekinologiya bye basobola okweyambisa okugatta omutindo kw’ebyo bye bakola.

Owek. Nsibirwa yebazizza bonna abakola ekisoboka okulaba nti omwoleso guno gubeerawo omuli abategesi aba CBS, Bannamikago, abavujjirizi ab’enjawulo, abantu bennyini aboolesa ate n’abo abeetaba mu myoleso nga balambula n’okugula ebintu eby’enjawulo.

Ye Owek. Mariam Mayanja Nkalubo mu lwa Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obweggassi, Obusuubuzi n’Obuvubi Owek. Amisi Kakomo yebazizza abakulira leediyo CBS olw’okutegekanga emyoleso gy’agambye nti giyambye okukendeeza obwavu mu bantu kubanga abantu bafuna omukisa okutumbula emirimu gyabwe n’okufunira bye bakola akatale. Ono agamba nti bwe basitula ebyenfuna byabwe, amaka n’eggwanga bitebenkera. Atenderezza emyoleso gino olw’okutumbula tekinologiya ayamba abantu okugatta omutindo ku bye bakola.

Pookino Jude Mulembe mu kwogera kwe agamba nti mu kwongera okunnyikiza okulima emmwanyi n’emmere naddala ebitooke, Bannabuddu basaba nti ku nkulungo eyingira Masaka wateekebwewo obubonero obulaga ebikolebwa mu Buddu. Yeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okuwa omukisa ekibuga kye Masaka n’Essaza Buddu okuba n’enteekateeka y’omwoleso.

Dr. Abed Bwanika ku lw’abakulembeze mu Gavumenti eya wakati ayongedde okweyanza Kabaka eyasiima Masaka n’afuna ekibuga, ono asuubiza okwongera okusakira Embuga ya Pookino amataala eyongera okwaka. Ono yebazizza Obwakabaka olw’eddoboozi ku mwanyi okuyita mu kaweefube wa Emmwanyi Terimba.

Abed agamba nti ekibuga Masaka kirima nnyo emmwanyi era okugitumbula kyongera enkulaakulana.Ono agamba nti China emanyise nnyo mu byenkulaakulana nga yesigama ku tekinologiya, okusomesa abantu, yebazizza Obwakabaka okuyita mu myoleso okuba nti tekinologiya ayongedde okutumbulwa abantu bongedde okusomesebwa okulaba nti bagatta omutindo ku bye bakola.

Omuk. Micheal Kawooya Mwebe Ssenkulu wa CBS agamba nti leediyo nga entambuza emyaka 30 mu buweereza, efuba okubaako kyeragawo ekiagasa abantu ba Nnyinimu naddala abalimi, abalunzi ne bannabizinensi abalala. Ono agamba nti kuno kwe kwolesebwa okwateesaawo omwoleso gwa CBS PEWOSA. Ayongeddeko nti baagala abantu bakole ebintu mu ngeri ey’omutindo naddala nti ebyobulimi ebirimu tekinologiya bisikiriza n’abavubuka okwenyigira mu mulimu guno ate nga bbo, Beene beyawa omulembe gwe.

Omuk. Kawooya agamba nti Ensi ng’eyongera okufuna okusoomoozebwa mu mbeera ez’enjawulo, tekinologiya atunuuliddwa okutaasa Bannansi era annyonnyodde nti okugeza abalimi bwe bannajjumbira tekinologiya basobola okwewala okukosebwa enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ng’omusana omungi n’ebirala. Akubirizza Abantu okwongera okuwuliriza CBS kubanga enteekateeka nnyingi z’erina mu kusitula omutindo gw’embeera z’abantu.

Omwoleso guno gukuŋŋanyiza abantu ab’enjawulo omuli ebitongole bya Gavument, eby’Obwakabaka, kkampuni ezikola ebintu eby’enjawulo naye okusinga ebyobulimi n’obulunzi. Guno gubeerawo buli mwaka nga gutegekebwa CBS PEWOSA SACCO ne CBS PEWOSA Nsindikanjake

LANGUAGE