Bya Frobisher Mujuzi
Mmengo – Kyaddondo
Abaweereza mu Bwakabaka bwa Buganda batudde mu lukiiko lwabwe olumalako omwaka, olukubiriziddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo.
Olukungaana lutandise n’omusomo okuva mu woofisi ya Ssaabawolereza nga omusomo gubadde gukwata ku ttaka n’engeri omuweereza wa Kabaka bweyeziyiza okugwa mu nsobi ennyingi ezikolebwa mu kugula n’okutunda ettaka.

Owek. Kaawaase ategeezezza nti Ssaabasajja alina abakozi abasoba mu 1700, bagaambye nti basaana okwesunako okuweereza embuga. Yebazizza abaweereza mu Gavumenti ya Beene emirimu gye bakoze omwaka guno, n’abakuutira bulijjo okwetabanga mu enteekateka z’Obwakabaka zonna.
“Okukolera Obwakabaka kikuwa omutindo ng’omuntu ogukusobozesa n’okuwangula mu mirimu emirala kyokka kino kikwetaagisa; okukuuma empisa, okukuuma obudde; okukolera awamu ne banno, okussa ekitiibwa mu bakama bo n’abo abali wansi wo ate n’okugoberera ennambika ya Nnamutayika mu mirimu egikuweebwa.” Prof. Kaawaase.
Mu kiseera ky’ebyobufuzi eggwanga kye lirimu, Owek. Kaawaase asabye abakozi bireme kubawulamu nga banyweze obumu; “mwetabe mu kulonda, wabula mwewale obuvuyo”
Prof. Kaawaase wano wasinzidde n’ayanjula abakozi b’omwaka era akutte ekyokusatu ye Mw. Ssenoga Kenneth, akutte ekyokubiri, Mw. Dennis Ssebwana ate omukozi w’omwaka mu Bwakabaka 2025 ye Mw. Kasaali Alex.

Minisita Noah Kiyimba naye eyetabye mu lukungaana luno, agambye abaweereza nti; “omusaala si gwe gugenda okukugaggawaza wabula kiki ky’okola mu budde bwo obulala, ate ne ssente z’ofuna ki ky’ozikozesa.” Abasabye okusiga ensimbi, okwewagira nga bagula ebintu ku bannaabwe, n’obutaswaza Kabaka kubanga yasiima bamuweereze.
Ye Omuwandiisi Ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro era akulira abakozi mu Bwakabaka Omuk. Josephine Nantege yeebaziza abaweereza emirimu gye bakoze omwaka guno era abasabye nga abaweereza okukuuma omutindo nga bakozesa obuyiiya okugatta ku mirimu gye bakola.
Omumukya w’omuwandiisi ow’enkalakkalira Omuk. Peter Zzaake awumbyewumbye nga yeyanza Ssaabasajja olw’okuteerawo abakozi emirimu gino, yebazizza Katikkiro olw’obukulembeze obulungi wamu ne Prof. Kaawaase olw’ennambika ennungi eri abaweereza. Asabye abaweereza okwefumiitiriza ku bubaka obubaweereddwa.