
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mengo
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru Owek. Joseph Kawuki atongozza olukiiko olulondeddwa okwekennenya entambuza y’emirimu mu Masaza n’engeri gye gikoleddwamu wakati wa Muzigo 2024 ne Muzigo 2025, luno lukulemberwa Mw. Godfrey Male Busuulwa.
Minisita Kawuki, ategeezezza nti essira lyakuteekebwa ku bintu ebikoleddwa n’engeri gye bikoleddwamu, okunyweza obuwulize eri Namulondo, obwerufu, wamu n’obumu nabwo obulabikidde mu bikoleddwa. Asabye olukiiko olulondeddwa okukola omulimu guno mu bwesimbu ate n’obumalirivu olw’ekigendererwa ekikulu eky’okutumbula entambuza y’emirimu mu Bwakabaka.
Owek. Kawuki atangaazizza lwaki empaka zino tezaaliwo omwaka oguwedde, ky’agambye nti ky’ava ku Baami ba Kabaka abaali baakayingira obuweereza nga tebannaba ku bukala bulungi mu bifo byabwe, wabula oluvannyuma lw’omwaka mulamba nga baweereza asuubira nti baliko bye bakoze era ebinaava mu kulondoola okunaakolebwa olukiiko olutongozeddwa, bya kwanjulwa nga 27 Kasambula ne alipoota ku binaaba bizuuliddwa efulumizibwe.

Godfrey Male Busuulwa, Ssentebe w’olukiiko olulondeddwa, asabye Abaami ba Kabaka obutatya nteekateeka eno kubanga ekinyusi ekikulu kya kulambika ntambuza y’emirimu, era asuubizza nti bagenda kukola omulimu oguweesa Buganda ekitiibwa mu bwesimbu, obumalirivu, era mu kwagala.
Essaza erinasukkuluma ku malala lyakuweebwa engabo, n’ebirabo ebibala ebiwerako.