Okukuza olunaku lw’essaza Kyaggwe

Amawulire Jun 13, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mukono – Kyaggwe

Bannakyaggwe bakuŋŋanidde ku mbuga y’Essaza lyabwe mu Ggulu e Mukono mu ggombolola ya Mut. IV Kawuga okukuza olunaku lwabwe.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’ono mukunja kaswa y’abadde omugenyi omukulu, ono yebaziza Ssekiboobo olw’okuyoyoota embuga y’essaza ng’agamba nti eno kati egyayo ekifanaanyi ekituufu eky’Obwakabaka bwa Buganda.

“Njozaayoza essaza Kyaggwe okubeera n’olunaku olw’essaza olusookedde ddala mu byafaayo,” Owek. Nsibirwa.

Oweek. Waggwa akubirizza abantu okukola ennyo basobole okweggya mu bwavu mu maka gaabwe nga bakozesa obuyiiya n’okwagala ng’Obwakabaka bwe bubabukuutira bulijjo. Bano era abakalaatidde obutetundako ttaka lyabwe wabula balikozese okutondawo emirimu egy’enjawulo okwekulaakulanya.

Omwami w’essaza Kyaggwe Ssekiboobo Owek. Vincent Matovu Bintubizibu alaze essanyu lya nsuso olw’abantu abazze ku mukolo guno b’agambye nti balaze omukwano eri Nnamulondo n’abasaba okwongera okukola n’amaanyi nga bagenderera ebintu Katikkiro by’abakuutira okukola.

Ssekiboobo aloopye ebimu ku bituukiddwako mu bbanga ery’omwaka ogumu okuva Ssaabasajja lwe yakola enkyukakyuka mu bukulembeze bw’Essaza n’abalonda okulimulamulirako, mu byaloopye mulimu; okusiba olukomera okwetolola embuga, emmerezo y’emmwanyi, okunyweza obumu, essomero lya nnasale, okutuuka ku luzannya olw’akamalirizo mu mpaka z’Amasaza omulundi ogwasookera ddala mu byafaayo by’essaza n’ebirala.

Wabaddewo n’okwanjula ttiimu y’essaza Kyaggwe wakati mu kwetegekera empaka z’Omupiira gw’Amasaza ezitandika ssabbiiti ejja. Ssentebe w’Olukiiko ye Hon. Sserubula Stephen asuubiza okuleeta obuwanguzi eri essaza omwaka guno.

Wabaddewo n’okulambula pulojekiti ez’enjawulo eziddukanyizibwa ku mbuga y’essaza lino okuli emmerezo y’emmwanyi ezisoba mu 30,000, ennyumba etesezebwamu Olukiiko lw’essaza lino, essomero Ssekiboobo Primary School n’ebirala.

Ku mukolo guno wategekeddwawo emizannyo okubadde; ekigwo ggumbya eggaali z’Empaka, omweso, empaka z’obumanyi eziyitiddwamu abantu ab’enjawulo okuwa ebyafaayo ku Ssaza Kyaggwe wamu n’amasomero okusanyusa era nga empaka zonna ziwagiddwa ebitongole eby’enjawulo.

Omukolo guno gwetabiddwako, Nnamasole, Ssaabaganzi, Omwami wa Kabaka ow’essaza Kkooki Owek. Gertrude Nakalanzi Ssebuggwawo, Omumyuka Owookubiri owa Ssekiboobo Mw. Fred Katende, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannaddiini, bannabyabufuzi ab’enjawulo wamu n’abantu ba Ssaabasajja Bannakyaggwe, n’emikwano gya Kyaggwe.

LANGUAGE