
Bya Samuel Stuart Jjingo
Namirembe – Kyaddondo
Obwakabaka bukungubagidde Nnaalinya Gertrude Tebattagwabwe Sempala mu kkanisa y’e Namirembe.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza omukwano, obumalirivu n’obukozi Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe gw’agambye nti abadde mujjumbize nnyo mu nteekateeka obubadde z’Obwakabaka ez’enjawulo.
Obubaka bwa Katikkiro busomeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ne Tekinologiya Prof. Twaha Kaawaase Kigongo mu kusabira omwoyo gw’Omubuze
“Nnaalinya Tebattagwabwe abadde ayagala nnyo Kabaka Ronald Muwenda II, okutuusa lw’eyakoseka mu biseera bya lumiimamawuggwe teyavaanga ku lusegere lwa Ssaabasajja Kabaka ate nga n’emikolo gy’Obwakabaka emikulu,” Katikkiro Mayiga

Omulabirizi wa Kampala Diocese eyawummula Rt. Rev. Hannington Mutebi, nga yakulembeddemu okusaba kuno, asomoozezza abantu okweddako ku bikolwa ebitaggya nsa naddala abatulugunya abalala okumanya nti bakubitebya mu maaso ga Katonda.
Ssaabalangira Godfrey Musanje agambye nti Nnaalinnya yennyigira butereevu mu mulimu gw’okuzzaawo obwa Kabaka bwa Buganda era abukoleredde nnyo.
Omulangira Daudi Mawanda Namugala agambye nti Nnaalinnya ayagadde nnyo Obuganda ne Kabaka era yetabye mu kusalawo okwenkizo mu nteekateeka zonna ezigenderedde okutumbula Buganda.

Aloysious Matovu Joy ayogedde ku lw’abajjajja agambye nti Nnaalinnya Tebattagwabwe abadde yewaayo okukwatirako Ssaabasajja Kabaka mu nsonga zonna ng’alamula Obuganda.
Katikkiro w’Ekika ky’e Ffumbe Mw. Ssebaggala Kigozi John amutenderezza olw’okukuza obulungi abaana ate nabayigiriza obuwangwa n’ennono.

Okusaba kuno kwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Abalangira n’Abambejja, Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Bbanja, Rt. Rev. Hannington Mutebi, bannaddiini ab’enjawulo, Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge, Baminisita ba Kabaka n’abakungubazi ab’enjawulo.