Okutaasa Walusi ku basaatuusi

Amawulire Oct 04, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Walusi – Bulemeezi

Obwakabaka bwa Buganda butannyikizza kaweefube w’okuddaabiriza, okununula n’okukulaakulanya ebitundu eby’enjawulo ku lusozi lw’ebyefaayo mu nnono ya Buganda, Walusi ssaza Bulemeezi.

Jjajja w’Olulyo Olulangira era Ssentebe w’Akakiiko k’Ebyennono mu Bwakabaka Ssaalongo Luwangula Basajjansolo yekokkodde entalo ezifumbekedde ku nsozi eziri e Walusi mu bifo eby’enjawulo okuli Embuga z’obuwangwa ne nnono ez’enkizo mu Bwakabaka.Ono alambudde ebifo okuli; Embuga ya Nambi, Mirinze, Ssewamala ne Mayembe ga Mbogo ng’agenderera okuzuula ekituufu ekireese entalo ez’enjawulo eziri ku bifo bino, era kizuuliddwa nti abantu abasinze okuleeta endooliito ku nsozi zino b’ebo abeesenzezako ne batandika okukolerako bye baagala, kusangiddwako n’abeeraguza abatamanyiddwako ngeri gye basenga mu kifo kino.

Ono alabudde nti bano bye tebamanyiddwa mu Bwakabaka era mu bifo bino baliwo mu bumenyi bw’amateeka.Ssaalongo Luwangula agamba nti ebizuuliddwa bigenda kwanjuliibwa eri Ssaabawolereza wa Buganda okulaba nga kaweefube w’okutaasa Embuga zino ku bannanfusi n’abasalimbira ku ttaka lino avaamu ebibala.

Walusi aliko ensozi 102 ez’enjawulo nga Obwakabaka bugenda kupima ettaka lino, liteekebweko obupande obulaga ebifo bino awamu n’okukulemberamu enteekateeka y’okulikulaakulanya.

Ssaalongo Luwangula awerekeddwako Omukwanaganya w’Obuwangwa n’Ennono Mw. Patrick Sseruwagi, Omulangira Jjuuko Kanakulya Kittengo n’abantu abalala.

LANGUAGE