Okwabya olumbe nnono nkulu nnyo mu Buganda -Owek. Waggwa akikaatiriza

Amawulire Nov 29, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Lwengo – Buddu

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde Lwengo mu Buddu ku lumbe lw’Omugenzi Fred Nakabaale Mugarura e Kabalungi, ono taata w’omu ku basirikale mu Bwakabaka Afande Deogratious Ssali.

Oweek. Waggwa agamba nti olumbe luyamba ab’omunju okukoma okukungubaga n’okukaaba kubanga bafuna omusika add mu bigere by’oyo abeera yagenda, olwo omusika n’abakumaakuma nga omugenzi bweyali.

Oweek. Nsibirwa agamba nti ne mu kitabo kya Bayibuli abantu bavudde dda nga babasikira kale abo abeekweka mu ddiini okuddibya ennono y’okwabya olumbe balina okukikomya, ennono eno okweyongerayo oluberera bwatyo akinoganyiza nti Obwakabaka bussa ekitiibwa mu buwangwa buno nga y’ensonga eteekesaawo omwaka ogumu nga olumbe lutambuzibwa okuva omuntu wafiiridde.

Oweek. Waggwa akulisiza omusika okutuuka ku bukulembeze buno bw’atuuseko wabula amusabye okubeera omulamuzi era omukulembeze omulungi nga alabira ku bantu nga Afande Ssali gwatendereza okubeera omukakkamu, omwesigwa, omwegendereza, omuyonjo ate akologana n’abantu.Mu

Mu ngeri endala alaze essanyu eri abantu b’e Kabalungi okuwuliriza omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’okulima emmwanyi z’alabye ku makubo gayisseemu bwatyo n’abasaba okuteerekawo ensimbi ezizzaayo abaana ku masomero awamu n’abaami okufissawo aka ssente okugulira ku bakyala baabwe engoye za Ssekkukulu.

Omumyuka wa Pookino Owookusatu Mw. Dick Muwanga yeebaziza nnyo Katikkiro olw’okusurira Ssaalongo Ssali omwoyo n’atamulekerera mu kaseera nga kano okuva lweyaviibwako kitaawe.Ssaalongo

Ssaalongo Ssali Deogratious, omusirikale mu Bwakabaka ku lwa bamulekwa asabye omusika wa kitaabwe okubakumakuma obulungi nga abaana ba famire y’omugenzi Mugarura nga atambulira mu kifanaanyi kya kitaabwe, bwe yeyisaanga awamu n’okussaamu abantu ab’enjawulo ekitiibwa.

Omusika atuuziddwa ye Mw. Jeremiah Ssentongo Nakabaale Mugarura awamu ne Lubuga we Muky. Rose Nassali. Omukolo guno gwetabiddwako Rev. Fr. Francis Mukasa, Oweek. Ritah Namyalo Waggwa, bamulekwa awamu ne Nnamwandu n’abantu abalala.

LANGUAGE