Olusirika lw’abakulembeze mu bwakabaka lukomekkerezeddw, Abakulembeze basabiddwa okukulembeza abavubuka

Amawulire Apr 10, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Kakeeka – Mmengo

Olusirika lw’abakulembeze mu bwakabaka lukomekkerezeddwa wakati mukusaba abakulembeza okuteeka abavubuka ku mwanjo mu byonna byebakola bafuuke ab’omugaso eri Obwakabaka.

Mu lusirika luno baminisita mu Minisitule ez’enjawulo awamu n’ebitongole banjudde enteekateeka zebalina eri abavubuka okulaba nti bafuuka ab’obuvunaanyizibwa, bagobe obwavu era bakulaakulane.

Olwa leero Minisita wa obuwangwa, ennono n’Obulambuzi, Oweek Anthony Wamala, ayanjudde enteekateeka Minisitule gy’atwala eya e nnono, obuwangwa n’Obulambuzi gyerina eri abavubuka.  Mu buufu bwe bumu Minisita w’Obulimi, Obulunzi, obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, ne Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, nabo banokoddeyo enteekateeka zebalina eri abavubuka.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya, Tekinologiya n’ Enzirukanya y’Emirimu, era ssentebe w’akakiiko akalondoola Nnamutaayiika, Oweek Prof. Twaha Kaawaase Kigongo alaze abasirisi we batuuse mu kutuukiriza ebyo ebyasoosowazibwa okukolwako mu bbanga erya emyaka etaano n’abalaga obubonero buli omu engeri gyatuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe.

Bw’abadde aggalawo olusirika luno, Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze abakiise emitendera omukaaga (6) gye balina okuyitamu mu nkola y’emirimu.

Abasabye bulijjo okufuna ebirowoozo, okuteekateeka ebirina okukolebwa; okussa mu nkola ebiri mu nteekateeka; okulondoola entambula y’emirimu; okunnyikiza ebitambudde obulungi ; ate n’okulongoosa ensobi olwo ebintu bijja kutambula kinnawadda.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti ekitiibwa kya Buganda kirina kulabikira mu bantu, enneeyisa; mu maka; mu ndabika, ate nga abasinga be bavubuka. Omuvubuka atali muyiiya; munyiikivu; mwerufu, tajja kwetaba mu bintu bya Kika oba okukiika embuga.

Abakuutidde okulaba nti babangula n’okusomesa abavubuka kiyambe okugaziya emikisa gyabwe olwo bafuuke enkokoto ejja okunyweza ennono n’obuwangwa bwa Abaganda era ba balinamu essuubi ddene.

Olusirika lutambulidde ku mulamwa, Okusoosowaza omuvubuka mu nteekateeka n’okussa mu nkola pulogulaamu z’obwakabaka nga lwetabiddwamu baminisita, abakiise n’abakulira abaweereza mu Bwakabaka ku mitendera egy’enjawulo.

LANGUAGE