
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bubangudde bannakibiina ki Nkobazambogo nebasomesebwa ku nsonga ez’enjawulo naddala ezikwata ku bukulembeze.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwomukaaga.
Bw’ abadde ayogerako eri Abavubuka bano, Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga abasabye okutegeera nti obukulembeze si kifo wabula kutuukiriza buvunaanyizibwa eri bookulembera n’abakuli waggulu.
Owek. Sserwanga abakuutidde okwewala okwebulankanya naddala nga waliwo ebibasuubirwamu okukola.
Owek. Serwanga akubirizza abakulembeze b’Abayizi okubeera abaamazima mu buli kye bakola kibayambe okufuna obwesigwa mu bantu olwo n’obukulembeze bubanguyire.
Abakuutidde okwagala ennyo Kabaka n’okwetaba mu nteekateeka z’okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 70 agasembedde.

Bano Minisita Serwanga abalabudde abavubuka ku nkozesa y’emitimbagano naabasaba okunoonyako ebyo ebibagattako beewale akabi akagirimu.
Ku kakulu akasembedde, abasabye obutenyigira mu bikolwa bimenya mateeka nabakubiriza okuwa endowooza z’ abalala ekitiibwa era balondere mu mirembe.
Bannankobazambogo abeetabye mu masomero gano bavudde mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo era basomeseddwa ku miramwa egy’enjawulo nga obukulembeze, obuwangwa, ennono n’obulambuzi, eby’amawulire ne tekinologiya n’emiramwa emirala.
Omusomo guno gwe gw’omutendera ogusooka kw’egyo esatu egirina okuyisibwamu abakulembeze okusinziira ku nteekateeka ya Minisitule y’abavubuka.