Omusomo ku Ebola: Obwakabaka bubangudde abantu

Amawulire Jul 02, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Omusomo gw’okukubaganya ebirowoozo okw’abakulembeze mu bwakabaka ne bannaddiini ku ngeri y’okwetangira endwadde ezigwirawo naddala Ebola.

Omusomo guguddwawo Ssentebe w’akakiiko k’ebibamba mu bwakabaka era Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, n’asaba abantu ba Buganda okugoberera emikutu gy’amawulire emituufu egifulumya amawulire agataliimu bulimba, era bakozese olulimi abantu lwe basinga okutegeera nga babunyisa obubaka obukwata ku Ebola.

Oweekitiibwa Kazibwe era ayogedde ku nneeyisa z’abantu nga nazo bwezivaako okusasaana kwa Ebola naddala enneeyisa ya bannansi ba Congo ey’okulya Enkima ate nga wano teziriibwa, n’olwekyo n’akubiriza abantu ba Buganda okulwanyisa ebikolwa ebiringa ebyo.

Dr. Fiona Kalinda Nakalinda, memba ku bboodi y’ebyobulamu mu bwakabaka, akubirizza abalina obulwadde bwa Ebola obutakozesa bulimba nga abasawo babasabye ebibakwatako wabula baweyo ebituufu kisobozese abakugu okuzuula eddagala ettuufu abantu bafune obujjanjabi.

Munnamawulire Culton Scovia Nakamya, abangudde abakulembeze bano ku nkoze y’omutimbagano n’okufaayo ennyo ku bisasaanyizibwa nga tebikakasiddwa, wabula buvunaanyizibwa bwabwe okunoonyereza ekituufu kyebalina okubuulira be bakulembera.

Ekitongole kya United Nations Development Program, kikubiriza abantu ba Uganda okwewala okwetaba mu nkungaana ne bannansi ba DR Congo okwewala okusasaana kwa Ebola.

Omusomo gutegekeddwa ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mmengo.

LANGUAGE