Omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025-2026 A Gutongozeddwa

Amawulire, Eby'obulimi Jun 13, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulera – Ssingo

Obwakabaka bwa Buganda bwatandika kaweefube wa mmwanyi terimba mu mwaka gwa 2016, kyokka buli mwaka Katikkiro alambula abalimi era n’atongoza omwaka omupya ogujjiramu ennyingo eziteekebwako essira okwongera okunnyikiza kaweefube ono.

Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu ssaza Ssingo mu ggombolola Musaale Bulera, asinzidde eno n’atongozza omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025/2026 A.

Kamalabyonna ennyingo z’alambise omwaka guno kuliko; abakyala n’abavubuka okujjumbira okulima emmwanyi, abantu okwettanira okunywa kaawa, okugatta omutindo ku mmwanyi, okujjumbira obweggassi, n’abantu abalina bye bakola emirimu emirala omuli n’ababeera emitala w’amayanja okubaako be beesiga babalimire emmwanyi eka.

Katikkiro okwogera bino, asoose kulambula abalimi b’emmwanyi abakuukutivu babiri okuli Juliet Nabateregga eyava ku kyeyo e Saudi Arabia ne Kalema Edward nga bombi bava mu maka g’omwami Ndibwaami Vicent. Eno Owek. Mayiga asabye abazadde okussa ekitiibwa mu maanyi g’aboomusaayi gwabwe baleme kubalyako ssente zaabwe n’addala abo abali ku kyeyo ze babeera babaweerezza. “Aba famire musse ekitiibwa mu maanyi g’abaana bammwe” Katikkiro.

Owoomumbuga asabye abavubuka okuba abagumiikiriza nga basimba emmwanyi kuba eyinza okutwala akadde okusobola okuvaamu ensimbi kyokka omuntu bw’atandika okunoga afuniramu ddala. Abasabye okulabira kw’abo abaweera emmwanyi obujjulizi n’ebirungi bye batuuseeko okuva mu mmwanyi.

Minisita w’ebyobulimi mu Buganda Owek. Hajj Amisi Kakomo yebazizza abalimi olw’okugobereranga ennambika okuva mu balimisa Ssaabasajja be yateeka ku buli ssaza, olwo amagezi ge babawa gasobole okubayamba okufuna ekiwera mu kirime ky’emmwanyi.

Ssentebe wa bboodi ya BUCADEF, Omuk. Dr Ben Ssekamate alaze enteekateeka ezinagobererwa mu mwaka gwa mmwanyi terimba guno omupya omuli okuzimba Ssemaduuka w’ebikozesebwa mu nnimiro era ategeezezza nti Ssingo lye limu ku masaza ana (4) mw’egenda okutandikira. Agamba nti kino kigenda kuwa abalimi ebikozesebwa ng’ebyuma ebikolera ku masanyalaze g’ebjuba ‘ ebinaakozesebwa okufukirira ennimiro okusobola okwewala ebizibu ebituuka ku mmwanyi mu biseera by’omusana

Ye Nabateregga Juliet omulimi w’emmwanyi ng’ono ensimbi ezaamusobozesa okutandikawo faamu ye, yazigya ku kyeyo e Saudi Arabia gy’agamba nti yakolayo okumala akabanga olwo omulimu gw’okusimba emmwanyi n’agukola ng’ayambibwako Kitaawe Ndibwaami Vicent. Alaze esanyu lingi olw’ensimbi zaafunye mu kirime kino mu kaseera akatono ddala.

Kalema Vincent, ono muto wa Ndibwami Vincent agamba amagezi g’okusimba emmwanyi gaamuwebwa mukulu we, asiimye nnyo Katikkiro olwa kaweefube wa mmwanyi Terimba ng’akikaatiriza nti okulima kukyusiza nnyo obulamu bwe okuva bwe yava mu mirimu gy’obubazzi n’okusiiga langi n’afuuka omulimi.

LANGUAGE