Omwana asaana okumanya obuvo bwe mu bwangu

Amawulire Jun 25, 2026
Share This

Bya Jjuuko Huzairu Wasajja

Mmengo – Kyaddondo

Abayizi ba Kibuli Secondary School bakyaddeko embuga.

Minisita w’Amawulire mu Bwakabaka Owek. Kazibwe Israel Kitooke, y’ayanirizza abayizi bano ku lw’omumyuka wa Katikkiro asooka Owek. Prof. Twaha Kigoongo Kaawaase wamu ne Minisita w’abavubuka Owek. Robert Serwanga.

Minisita asoose kubuulira bayizi bano ebimu ku byafaayo bya Buganda, nga muno ababuulidde nti Buganda edda yali eyitibwa muwawa olwensonga nti yali yesudde amabanga.

“Awantu wano we muzze wamalidde ddala emyaka n’ebisiibo, naye ngenda kubazzaayo emabega mumanye ebintu bino byavaawa, muzze muwulira nti omuganda eyasooka yali kintu era muwulira ne mboozi ya Nambi ne Walumbe, naye kyonna kyekiri Buganda yaliwo nga Kintu tannajja era yali eyitibwa muwawa olwensonga yali yesudde amabanga, ekintu ekyesudde amabanga kiyitibwa muwawa, era mwalimu ebika binnansangwa okuli ekyenyonyi nyange n’ebika ebirala nga era byalina obukulembeze bwabyo” Minisita Kazibwe.

Minisita agamba nti Kabaka Kintu bweyajja mu nsi muwawa, yajja n’ebika ebiwerera ddala n’abigatta nga ayambibwako abantu beyasangamu nti kwekufuna ebika byonna byetulina.

“Kabaka Kintu oyo bweyajja nga ttanafuuka Kabaka yamatiza abakulu b’ebika era n’afuna obwagazi okugatta ebika bye yajja nabyo ne byeyasangawo okulaba nga tufuna ebika kati bye tweddira era bwebaali batudde ku kasozi nnono mu busujju yeyabaga enteekateeka gye tutambulirako n’okutuusa olunaku olwa leero ey’amasiga asatu okuli Olulyo Olulangira nga muno mwe muva Ssaabasajja Kabaka, Abataka Abakulu b’Obusolya wamu n’Abaami abakulemberwa Katikkiro” Minisita Kazibwe.

Minisita yebazizza abasomesa olw’omulimo gwe bakola ogw’okusomesa abaana eggwanga, era wano akuutidde abasomesa b’olulimi oluganda okunyiikiria okufaayo okumanya ebintu ebyo basobola okusomesa abaana, ebyafaayo by’ensi yaabwe nga babitegeera bulungi.

Ye omusomesa akulembeddemu abayizi bano Mugerwa Umar Ssengule, ategezezza nti ekigendererwa ky’okutambuza abayizi mu bifo nga bino kwe kumanya obuvo bwammwe n’obuddo balyoke bamanye gye bava ne gye bagenda era yebazizza Obwakabaka olw’omukisa ogwabaweebwa okubakkiriza okujja embuga anti akiika embuga amanya ensonga.

“Abaana bano tubaleese okwongera okumanya ntu Buganda ye maama waabwe yebaleze yebayonsezza, kye tuvudde tubaleeta, mu kujja wano tusoose ku kasozi kibuli ew’omulangira, abayizi bangi baali ku kasozi ako naye tebafangayo kumanya kasozi ako kajjawo katya, era kye tuvudde tubaleeta basobole okumanya gye bava ne gye bagenda” Mugerwa Umar.

LANGUAGE