Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be okwongera okwekebeza

Amawulire Mar 11, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Mityana – Ssingo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okunyikira okwekebeza, batwale eby’obulamu ng’ensonga enkulu lwebanaakulaakulana.

Obubaka buno Beene abutisse Omulangira David Kintu Wasajja bw’abadde atongoza olusiisira lw’ebyobulamu olwa Tubeere Balamu mu Ssaza Ssingo, ku kisaawe kye Ssaza mu kibuga Mityana ku Lwokubiri.

Mu bubaka bwe, Omutanda agambye bwati;

Kabaka Foundation nga bweyasuubiza, olusiisira luno lukubiddwa mu Ssaza Ssingo nga tugoberera enteekateeka eyokutuusa obujjanjabi ku bantu baffe mu buli Ssaza ly’obwakabaka.  Twebaza Bannassingo olw’okujjumbira enteekateeka eno gye twatuuma TUBEERE BALAMU COMMUNITY OUTREACH.  Mu kiseera kino Kabaka Foundation yakatalaaga Amasaza asatu ga lino lye lyokusatu.

Twebaza Abasawo n’Amalwaliro abeetabye obutereevu mu nteekateeka eno. Mu ngeri y’emu, twebaza bannamikago abavujjiridde olusiisira luno naddala Diamond Trust Bank, I&M Bank ne Buganda Kombucha ate ne twongera okwebaza abakulu bannaddiini ab’Enzikiriza zonna abatambudde naffe era ne bawagira nnyo enteekateeka zino.

Nga tutambuza kaweefube ono, waliwo ebizuuliddwa era abantu baffe bye basaanidde okumanya;

1. Obulwadde bwa Prostate bungi ddala nga buno bwegiriisiza mu baami abali wakati w’Emyaka Ana (40) n’okudda waggulu.

2. Obulwadde bwa mukenenya bweyongedde.

3. Obulwadde bwa sickle cells (Nalubiri) nabwo bweyongedde.

Mu mbeera eno, kisaanidde abantu bongere okwekebeza n’okwejjanjaba bamanye bwe bayimiridde.

Tufundikira nga tukubiriza abantu baffe bonna okunywerera ku mulamwa gwa TUBEERE BALAMU nga beekebeza n’okujjanjabibwa bwe baba bafunye obujjanjabi.

Twebaza Mukwenda n’Olukiiko awamu n’Abaami ba Ggombolola olwokutambulira awamu n’ekitongole kyaffe ekya Kabaka Foundation ekiteeseteese olusiisira luno.

Bannakyaggwe, Bannabulemeezi ne Bannabuddu Bakiise Embuga: Balabuddwa ku nsonga z’Obutondebwensi.

LANGUAGE