Ssaabasajja Kabaka asimidde ab’e Gomba enzizi z’amazzi amayonjo

Agafa e Mengo Feb 11, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Kabulasoke – Gomba

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nawa abantu be mu ggombolola ya Ssaabagabo enzizi kika kya Nayikondo bafune amazzi amayonjo.

Bw’abadde awaayo enzizi zino, Owek. Joseph Kawuki ategeezezza nti  oluzzi oluweza 917 lusimiddwa ku kyalo Nanjwenge mu Ggombolola Ssaabagabo Kabulasoke naakakasa nti omulimu guno gusimba mu nnyingo y’okukola obutaweera kiyambe okutumbula embeera z’abantu b’Omutanda.

Minisita Joseph Kawuki, agasseeko nti enteekateeka eno yakuyamba abantu okufuna amazzi amayonjo kikendeeze ku ndwadde n’abaana baleme kutambula ngendo mpanvu nga banoonya amazzi.

Owek. Kawuki asabye abantu okulwanirira Ssaabasajja Kabaka, baleme kukkiriza muntu yenna kumusimuuliza ttoomi ku bwakabaka n’Abaami ba Kabaka, nti bwebanaakola ekyo bajja kuba basasudde Kabaka olw’ebirungi byabakoledde.

Ono abalaze obukulu bw’enkung’aana z’ebweru w’Eggwanga Katikkiro zeyetabamu omuli olwa Buganda Bumu North American Convention, n’ebirungi ebizivuddemu omuli, eddwaliro eritambula, amasaza gafunye           omputer,  enzizi z’amazzi, okuzimba amalwaliro n’ebirala.

Ye Minisita w’ Ebyobulimi n’ Obweggasi, Owek Hajji Amisi Kakomo, yeebazizza abazirakisa okuva mu America, abawaddeyo ensimbi ezisobozesezza oluzzi luno okusimibwa.

 Yeebazizza Mw. Godfrey Yiga awaddeyo ekitundu ku ttaka lye awasimiddwa oluzzi luno. Aggumizza kaweefube w’okulima emmwanyi nti singa abantu he Gomba bamunyikirira bajja kugoba obwavu.

Omwami w’Essaza Gomba, Kitunzi, George William Mugabi, yebazizza Minisita Joseph Kawuki olw’okusakira abantu be Gomba nebafuna amazzi okugonjoola ekizibu ky’amazzi mu Gomba.

Owek. Mugabi annyonyodde nti mu Gomba bakyalina ekizibu ky’amazzi era omusana gubayisa bubi naddala mu mirimu gy’obulunzi bwatyo n’asaba nti bwewabaayo omukisa omulala basaanye balowoozebweko.

Wano walondeddwawo olukiiko olunaalabirira wamu n’okuddukanya oluzzi luno nga lukulirwa Mw. Ssemwanga Francis, omukolo guno gwetabiddwako Ssenkulu wa BUCADEF n’abakungu abalala.

LANGUAGE