
Bya Shafik Miiro
Ssaabasajja Kabaka Ronald Kugenda Mutebi II atenderezza omukululo gwa Nnaalongo Margaret Ndibalekera Kiwana mu kukuza abaana obulungi.
Nnyinimu asaasidde nnyo ab’enju z’abagenzi Martin Luther Nsibirwa ne ya Yoweri Lubega, abaana n’abazukkulu b’omugenzi olw’okufiirwa omwagala waabwe.
Obubaka buno busomeddwa Minisita Noah Kiyimba, mu kkanisa e Namirembe ewabadde okusabira omugenzi ku Lwokutaano.

Maasomoogi yeebazizza Katonda olw’emirimu emirimu gy’akozesezza Margaret Kiwana naddala okusomesa n’okugunjula abaana be, ne basobola okukuuma amaanya n’ebitiibwa by’ennyumba mwe bava.
Omuteregga ategeezezza nti ekiseera kyonna, omugenzi abadde omuntu omukakkamu, ow’ekisa era awa buli muntu ekitiibwa.
Beene asabye Katonda agumye abooluganda n’emikwano, n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Akulembeddemu okusaba kuno, Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira mu kubuulira kwe, asaasidde abakungubazi kyokka n’abajjukiza nti obulamu lugendo omuntu lw’atambula n’abaako watuuka n’asomoka okudda ew’Omutonzi we.

Ategeezeza nti omuntu bw’afa, abantu bamujjukirako oba okumusomako ebyo by’alese akoze era bw’atyo n’akubiriza abantu ba Katonda okulongoosa olugendo lwabwe nga tebannasisinkana Katonda.
Ku lw’ennyumba y’omugenzi Nsibirwa, Rhoda Kalema Nsibirwa naye omugenzi amwogeddeko ng’omuntu alese omukululo ogw’ebikolwa ebirakira mu baana be ate ne mw’ebyo by’alese ataddeko omukono gwe okuyimirirawo.
Ono agamba nti akabi kali mu kuba nti obulungi bw’omuntu bulabibwa amaze kuvaawo ng’abantu ab’enjawulo bamuwaako obujulizi, wabula Margaret Kiwana by’akoze byeyogerera. Asabye abaana okukuuma omumuli gwa nnyabwe nga gwaka.

Ku lw’Abaana, Hon. Maria Kiwanuka ayogedde ku nnyabwe ng’omuntu abadde takkiririza mu byakwenyoma, nga n’abaana be abawala abagamba tewali ku nkizo balenzi kye bakola kye batasobola.
Ono agasseeko nti ne mukiseera nga Kitaabwe afudde, Maama waabwe teyabagaba mu baŋŋanda wabula yamalira okubalabirira ate n’abasomesa mu masomero amalungi. Amusabidde Katonda amuwummuze mirembe.
Omugenzi Nnaalongo Margaret Ndibalekera Kiwana waakuziikibwa enkya e Namakomo mu Kyaggwe.