Ssaabasajja Kabaka yebazizza abaddu ba Allah okusiiba
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eud El-Fitr 2026
Twebaza Allah atutuusizza ku lunaku luno olw`ekitiibwa.
Tubeebaza okusiiba era tubakubiriza bulijjo ensonga y’okusiiba n’okwegayirira Allah, essibwemu ekitiibwa olw’ebirungi ebigirimu ebiyamba omuntu ssekinnoomu n’eggwanga lyaffe.
Tubakulisa okuyita mu biseera eby’okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy’enjawulo. Tusuubira nti, abaalondebwa banaatuukiriza ebyo bye baasuubiza abaabalonda n’okusingira ddala, okulwanyisa obuli bw’enguzi n’okusitula embeera y’obwavu abantu baffe gye balimu.
Tuwulidde obugulumbo obutali bumu mu bitundu bya Uganda naddala mu Buganda oluvannyuma lw’ekiseera ky’akalulu.
Tukubiriza wabeewo empuliziganya wakati wa bonna abeetaba mu kulonda kiyambe okunyweza emirembe egyannamaddala.
Abantu baffe bangi naddala abavubuka beeyunidde nnyo omukutu gw’empuliziganya ya TIKTOK. Tulowooza nti, omukutu nga guno guyamba okutuusa amawulire eri bantu baffe naye, tusaba abavubuka baffe bagukozese nga bawa amawulire amatuufu n’okwogera ku bintu ebizimba eggwanga omuli okusomesa eddiini, ennima ey’omulembe, eby’ensoma, obujjanjabi n’ebirala okusinga okwanika n’okuvuma abantu.
Tubasaba okwongera okusabira Obwakabaka bwaffe n’obufuzi obulumirirwa omuntu wa bulijo n’okumuyamba okukyusa embeera y’obwavu abasinga gye balimu n’okukuuma ebintu byabwe omuli ebibanja n’ettaka.
Tubaagaliza okukuza Eid El-Fitr n’emirembe
Katonda Abakuume
Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA
Ensimbi obukadde 133,371,500 ze zireeteddwa abantu ba Kabaka mu nkola eyaluwalo lwaffeOct 20, 2026
Olukiiko lw’essaza Buweekula lubanguddwa ku nkubiriza y’olukiiko olugwa mu nteekateeka y’Obwakabaka entuufuOct 20, 2026
Nnaabagereka Akunze Abe Australia Okunyweza OlulimiOct 19, 2026



