Ssekiboobo Matovu  atabukidde amagye agakyalemedde ku mbuga y’Eggombolola, bazing’amizza emirimu

Amawulire Mar 05, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Kawolo – Kyaggwe

Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Vicent Matovu Bintubizibu acomedde amagye agazinda embuga y’Eggombolola ya Kawolo mu Lugazi nga agamba nti balemesezza emirimu okutambula nga tebalina we bakakkalabiriza mirimu olw’obuwambe bwebalimu.

Ssekiboobo Matovu agamba  nti amagye gazimba ensisira ku mbuga yonna era nga tegakiriza muntu yenna kutuuka mu kifo kino ekiremesezza Abaami okutuusa empeereza ku bantu ba Kabaka.

‘Embuga weeri walina okuba nga weetadde bulungi naye kaakati bwoba otuuka ku mbuga buli wamu olaba nsiisira ng’ate  abantu ababeera mu byambalo ebyo balina empisa zaabwe njawufu,’ Ssekiboobo Matovu bw’ategeezezza.

Akulira enkambi y’ amagye eno,  ategeezezza nti Ssekiboobo kyayogerako kituufu era tebawamba naye baasaba mu mateeka nebakkirizibwa okubeera mukitundu kino era beetegefu okutambulira awamu n’Obwakabaka.

Ssekiboobo Matovu abajjukiza okimanya nti ebitundu ebisinga obungi omuli n’Embuga zino Gavumenti yazizzaayo mu Bwakabaka.

Ye minisita omubeezi okuva mu woofisi y’Omumyuka wa pulezidenti  Diana Mutasingwa asinzidde ku mukolo guno  naawa  obweyamu okukolera awamu n’essaza lye Kyaggwe nga alafubana okulaba nga gitambula bulungi nga ayita ayogerezeganya nabavunanyizibwa ku b’amagye abali ku mbuga eno.

LANGUAGE