Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire Okukunga era omwogezi w’obwakabaka, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, atongozza olukiiko olugenda okuteekateeka ttabamiruka wa bannamawulire mu Masaza ow’omwaka 2026 asookedde ddala mu bwakabaka bwa Buganda, nga 10 Ntenvu.

Olukiiko luno lukulemberwa Robert Namugera, akulira ekitongole ky’amawulire mu Ssaza Kyaggwe n’abalala okuva mu bitongole by’amawulire ebitali bimu.
Nga atongoza olukiiko luno, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, alaze obukulu bw’okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo n’okukuuma ekifaananyi ky’obwakabaka n’okukirwanirira nga bakozesa emikutu gy’amawulire naddala emitimbagano okubunyisa amawulire n’ebifa embuga mu butuufu bw’abyo.

Asinzidde wano n’asaba abakulira ebitongole by’amawulire ku Ssaza, Ggombolola, Omuluka, n’obutongole, baanirize enteekateeka eno egendereddwamu okulaba nga amawulire g’Obwakabaka gatambula okuviira ddala ku byalo okutuukira ddala waggulu nga bwetuli mu nkola ya situla omutindo, n’entambuza y’amawulire erina okubeera ku mutindo.
Robert Namugera, akulembeddemu enteekateeka za ttabamiruka ono, agamba nti ensi ekyuse olwa tekinologiya avumbulwa buli lukya, n’olwekyo baagala abamawulire babangulwe mu nkozesa ya tekinologiya aliko okugeza; Artificial intelligence, okukozesa obwangu mu kusasaanya amawulire g’Obwakabaka, empandiika y’amawulire agakwata ku bwakabaka nga bagoberera pulotoko, okuyiga okunoonyereza ku nsonga za Buganda n’ebirala, n’annyonnyola nti basuubira abantu abasoba mu 300 era enteekateeka eno ya kuyindira ku Our Lady Of Africa SSS Namiryango e Mukono mu Kyaggwe.
