Ttabamiruka w’Abakyala e Sweden: Abakyala bakuutiddwa ku kifaananyi ky’Amaka

Amawulire Aug 25, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Ttabamiruka w’Abakyala n’Abaana e Bulaaya atudde e Stockholm mu Sweden mu Ssaza lya Kabaka erya Scandinavia.

Minisita w’Ekikula ky’Abantu mu Buganda Owek. Mariam Mayanja Nkalubo bw’abadde ayogerako eri abantu abeetabye mu ttabamiruka ono, ategeezeza nti mu bintu byonna abanayu bye bakola, ekifaananyi kye balina eri abalala ne ku mirimu gye bakola kisibuka waka. Bwatyo n’asaba abantu okufaayo ku bikolebwa mu maka mwe bava n’enkuza y’abaana.

“Kikulu nnyo okufuba okulaba ng’Amaka gabeera ga kitiibwa, era mukimanye nti ekitiibwa tekijja buzzi, buli omu mu maka ge alina okukikolerera. Wabula ffe abakyala, ffe tutandikirwako okulaba ng’Amaka gabeera ga kitiibwa. Ekitiibwa ky’Amaka kitandikira ku nneeyisa y’omukyala mu maka, muno mwemuli okubeera n’empuliziganya ennungi mu maka, okussiŋŋanamu ekitiibwa, obuyonjo n’obukozi bye bisookerwako” Owek. Mariam

Ono akikaatitirizza nti amaka bwe mubeeramu abaana, era gafuuka essomero erisookerwako, okunyweza empisa mu baana, ebyobuwangwa n’ennono, olulimi lw’eggwanga lyo, olwo ebirala ne bigoberera, na bwekityo amaka bwe gabeera amatebenkevu, ne gye tuwangaalira wabeera n’obutebenkevu, wamu n’Ensi okubeera entebenkevu.

Minisita Mariam Nkalubo agamba nti wewaawo ekitiibwa kitandika n’Omukyala mu Maka, naye kyetaaga ne wabaawo enkolagana ennungi n’Abaami baabwe kubanga ekitiibwa ekijjuvu, kizingiramu abantu bonna ababeera mu maka n’okumanya obusobozi bwa buli omu era ne bagabana obuvunaanyizibwa wabula nga bawagiragana mu mbeera zonna. “Amaka okutebenkera omwami n’omukyala beetaaga okunyweza omukwano gwabwe buli omu alowooze ku ngeri ezenjawulo ezisobola okunyweza amaka era bazisse mu nkola”

“Tukimanyi bulungi nti eno e Sweden, mubeera n’okusoomoozebwa kubanga obuwangwa bwayo bwa njawulo ku bw’e Buganda. Era kibeera kizibu nnyo okunywerera ku buwangwa bwammwe ng’ate mutambulira mu buwangwa bulala. Eky’okulabirako, kizibu okuyigiriza abaana Oluganda ng’ate bye bakola ne bye basoma bibeera mu lu Swiidi. Kyokka tulina okufuba, tulwogere, tugezeeko okufuna obutabo, ate kati ku mulembe ogwa Tekinologiya, tusobola bulungi okufuna empenduzo ku mitimbagano eziyigiriza olulimi oluganda” Owek Mariam akuutidde ababeera ebweru wa Buganda.

Minisita Mayanja asabye ababeera ebweru wa Buganda wakati mu kusoomoozebwa olw’obuwangwa obw’enjawulo obubeetoolodde bafube okussaamu abantu ekitiibwa, okubuuzagana enneeyisa mu kulya, ennyambala, okwogereganya n’empisa endala ez’Obuntubulamu ng’okubeera ab’Amazima, obwesimbu, okufuna ensonyi ku bintu ebikyamu, okufaayo, obukozi n’obukulembeze. Bino bibayambe obuteerabira nsibuko yaabwe.

Ssentebe wa Ttabamiruka w’Abakyala mu Buganda, Dr. Sarah Nkonge Muwonge, asabye abazadde okufuba okusomesa abaana Ebika byabwe wamu n’ensonga ezikwata ku Ggwanga lyabwe, era babatuume amannya g’Abaganda okubasobozesa okwenyumiriza mu nsibuko yaabwe.

Ttabamiruka ono atambulidde ku mulamwa; “Amaka amalungi n’obwegassi mpagi mu nkulaakulana“.

Abavubuka n’Abaana abato abeetabye mu lukungaana luno, boolesezza ebintu eby’enjawulo ebyoleka obuwangwa bwabwe gye basibuka omuli; okuwaata emmere, okulanya, okuyimba, okusoma olulimi oluganda n’ebirala.

LANGUAGE