Katikkiro Ayogedde Ku Kalulu Akasembedde

Amawulire Sep 09, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Bulange

Katikkiro atikkudde oluwalo lwa bukadde 73 okuva mu bantu ba Kabaka abakiise embuga mu nkola ya luwalo lwaffe, nga bano bavudde mu Ssaza Ssingo, Mawokota, ne New England mu America.

Ku nsimbi zino Ggombolola Mutuba 1 Bukuya ereeseeko obukadde 30 era y’eggombolola esukkulumye ku malala agakiise olwa leero okuleeta oluwalo olungi.

Mu kwogera kwe, Katikkiro asabye ebibiina by’obufuzi bikwase bendera abakulembeze abaluubirira okujuna abantu ssi bano abanoonya okwogerwako, agamba nti mu Uganda ya leero tukyalina omulimu ogw’okuyamba omuntu wa bulijjo okulwanyisa obwavu, era oyo ayagala okukiikirira abantu alina okuba n’amagezi agakyusa embeera z’abantu aba bulijjo, nga tawaayo bubbaasa kugulirira balonzi, wabula oyo asobola okuyimirira mu lukiiko n’ayanja ensonga ezikwata ku ddembe ly’obuntu, eby’enjigiriza, eby’obulamu ebinaataasa, ebibuga byetaaga okutereeza, amanyi ensonga z’obwakabaka, ategeera Kabaka, era alese ekibuuzo nti abo be bawadde kaadi bategeera ensonga ezo?.

Katikkiro Mayiga wano w’asabidde akakiiko k’ebyokulonda nako kakolere mu bwesimbu, mu mazima n’obwenkanya olwo eddoboozi ly’abantu lisobole okuvaayo.

“Ebiva mu kalulu bwebiba byesigika Ensi etebenkera olwo ne tubakana n’eddimu ery’okukola kw’ebyo ebitukuumidde emabega” Katikkiro bw’agambye.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, agamba nti buli muntu asaana okubaako gwategeeza nti Buganda etambula egenda mu maaso era naye emwetaaga, era yebuuze Kiki kyakoze okussa ettoffaali ku bwakabaka bwa Buganda nga asinziira eyo yonna gyali okulaba nga obwakabaka bugenda mu maaso. Asabye amasaza agayiseewo okugenda ku mutendera oguddako mu mupiira gw’Amasaza, okukuuma empisa, emirembe, n’ekitiibwa ky’obwakabaka.

Abaami b’e Ggombolola ezikiise olwa leero baliko ensonga ze bategeezezza Katikkiro ezifa mu bitundu by’abwe omubadde n’okwebaza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuzimbira ab’e Busimbi eddwaliro basobole okujjanjabibwa endwadde ezibaluma. Ggombolola ezikiise kuliko; Mumyuka Busimbi 15.37m, Mutuba 1 Bukuya 30m (Ssingo), Musaale Buwama 17.32m (Mawokota), New England 10m (America).

LANGUAGE