Bannabyabufuzi Abakulu Bavumaganya Ebyobufuzi by’Eggwanga – Katikkiro

Amawulire Sep 10, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo- Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Abavubuka Bannakibiina ki People’s Front for Freedom – PFF abakulembeddwamu Ssentebe waabwe Buwembo Patrick Henry, abakyaddeko e Mbuga okwenyanjula.

Katikkiro Mayiga mu kwaniriza bano abajjukiza nti Bulange bwe butaka bw’abantu bonna abakiririzza mu Ssaabasajja Kabaka era n’alaga essanyu olw’okujja kwa bano ng’akikaatiriza nti omuntu yenna by’atakola mu bavubuka bimulumiriza mu bukulu, era abavubuka okukiika Embuga nsonga nkulu nnyo.Katikkiro abavubuka bano abasibiridde entanda mu byobufuzi bye bayingiddemu okukulembeza okuweereza abantu, okutegeera ebibaluma n’okumanya nti ebyobufuzi si kazannyo wabula nsonga ya bukulembeze.

“Tulaba Bannabyabufuzi abakulu bangi bantu abakola ebintu ebitaweesa byabufuzi kitiibwa omuli; obuli bw’enguzzi, okuleetawo obusambattuko, okunyigiriza abanaku, okulagajjalira abavubuka n’ebirala, twagala abavubuka okwewala emize nga gino” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga era akuutidde abavubuka obutalwanira bitiibwa mu byobufuzi bye boolekedde wabula bafube okukola obuvunanyizibwa bwabwe mu bwerufu era mu butuufu nga bwe basuubirwa olwo ebitiibwa bibagoberere.

Ye Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga Saalongo akunze abavubuka bonna okwettanira okulonda kwa bonna okusobola okusalaawo ku nsonga ez’omuggundu mu ggwanga. Ono agamba nti Buganda nsaale nnyo mu kuteekateeka abakulembeze awatali kwawulayawula mu bibiina by’abufuzi, era asabye bonna abagenda mu byobufuzi okusoosowaza ensonga za Buganda.

Abavubuka bano okuyita mu Ssentebe waabwe Buyondo Patrick baloopye Embuga ensonga z’ekiwamba bantu n’eza bannaabwe abali mu makomera nga kwe kuli ne Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye amaze kati omwaka ogumu nga anoonya obwenkanya.

Buyondo agamba nti bbo nga PFF bakkaanyiza ddala nti ensonga ssemasonga ey’okugabana obuyinza mu nkola eya Federo” gye bakulembeza mu buweereza bwabwe era basuubira okukwatagana obulungi n’Obwakabaka mu nsonga nga zino n’endala.

Bano batonedde Katikkiro ekirabo eky’Ekika kye eky’Omutima.

LANGUAGE