Abantu Balabuddwa obutavoola buwangwa

Amawulire Sep 10, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Seguku – Busiro

Ab’enzikiriza y’Obuwangwa n’Ennono beetabye mu kusaba nga bakuza olunaku lw’amadda g’Omulongo Kato Mayanja ku Mbuga ye esangibwa ku lusozi e Seguku.

Minisita w’Obuwangwa, Ennono, Embiri n’Ebyokwerinda Owek. Dr. Anthony Wamala ajjukiza abantu nti ku lunaku luno baasanidde okujjukirirako ensibuko yaabwe, okugyagala, okugimanya, okugikulaakulanya n’okugikuuma.

Obubaka buno abutise Omukwanaganya w’Obuwangwa, Ennono n’Okunonyereza mu Bwakabaka Mw. Patrick Sseruwagi mwagambidde nti obuwangwa n’ennono y’ensibuko ya buli ggwanga nga kino kibayigiriza empisa ennungi ey’obumu, obuntubulamu, n’okusiima5 wa gye bava.

Minisita Wamala agamba nti omulembe tegusaanidde kuddibya buwangwa. “Wakati mu nkyukakyuka z’ensi eno, abavubuka bangi batandise okulowooza nti empisa z’obuwangwa zaadiba. Naye nkubiriza buli muntu: abavubuka, abakadde n’abaana okwagala, okusiima n’okukuuma obuwangwa bwaffe tusobole okufuula obuwangwa bwaffe eky’omugaso mu by’enfuna, ebyenjigiriza, n’okutumbula eby’obulambuzi,” Minisita Wamala

Jjajja w’Olulyo Olulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo abakubiriza obutatyoboola bifo nga bino eby’ennono kubanga byabwe era kibakakatako, bwatyo asabye n’abakulu okuva mu gavumenti eya wakati abafubye okusaanyawo ebifo nga bino nga berimbise mu linnya ly’omukulembeze w’eggwanga okukikomya.

Omulangira Luwangula asabye abakulembeze mu kifo kino okukireka nga bweba bakisanze, beewale okukyusa obuwangwa n’obulombolombo abantu bwe bamanyi ekiyinza okuttatana ennono yabwe.

Ekifo kino kuliko eddwaliro, essomero eritendeka emirimu gy’emikono era waliwo n’emirimu egy’enkizzo egikolebwawo mu nnono y’Obwakabaka.

LANGUAGE