Obwakabaka bukungubagidde Ssentebe w’ekibiina ky’abaluŋŋamya b’emikolo eyasookera ddala

Amawulire May 21, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wasajja

Namaliiri – Kyaggwe

Eyali Ssentebe ow’ekibiina ky’abaluŋŋamya b’emikolo eyasookera ddala Ssonko Hannington aziikiddwa mu leero nga 21 Mizigo 2026 Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika y’akulembeddemu abakungubazi abavudde mu Bwakabaka era y’atuusizza obubaka bwa Katikkiro.

“Ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka ne ku lwange tutuusa okusasiira kwaffe eri Minisita Anthony Wamala olw’okufiirwa muganda we, tusaasira Namwandu, abaana, ab’oluganda n’abemikwano olw’okuviibwako omuntu wammwe ate mukwano gwaffe” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro ategezezza nti omugenzi abadde mpagi luwaga mu Buganda olw’ebyo by’akoledde Obwakabaka omuli okutandikawo ekibiina ky’abaluŋŋamya b’emikolo okwo n’agattako n’okukola emirimu egy’obwanakyewa emirala miyitirivu, ono abadde omu ku bannakyewa abanonyereza mu minisitule y’obuwangwa akulembedde enteekateeka nyingi ezigendererwamu okutumbula obuwangwa bwaffe.

Katikkiro agamba nti ono ajja kusaalirwa nnyo era anajjukirwa olw’obuwerezaabwe obulungi.Kamalabyonna yebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde Ssonko Hannington n’olwebirungi by’amusobozesezza okukola era n’asaba omwoyo gw’omugenzi Mukama agulamuze kisa.

Okuwerekera omugenzi Ssonko kutandise na kitambiro kya mmisa era Rev. Daniel Kiggundu Omusumba w’obusumba bw’e Namaliiri ategezezza nti Ssonko emirimu gye egyokunsi agikubye oluku mu mutwe, awo wasabidde abantu okudda eri Katonda era n’abategeeza nti ensi ebemalizaamu bwereere, bafube okukola ebyo ebisanyusa eyabatonda ate nga tebakosa bantu bannaabwe.

Okuziika kwetabiddwako baminisita ba Kabaka okuli; Owek. Daudi Mpanga, Owek. Amisi Kakomo, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Oweek. Noah Kiyimba, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini, Bannabyabufuzi, n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE