Katikkiro Charles Peter Mayiga atuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II eri abantu be abeetabye mu ttabamiruka wa Buganda Bumu European Convention ategekeddwa mu Global Event Center mu kibuga Berlin ekya Germany. Obubaka bwa Beene obusomeddwa mu kuggulawo ttabamiruka ono bwe buno;
Tubalamusizza nnyo mwenna era tubaanirizza mu Ttabamiruka w’omwaka 2026. Enkola eno ey’okutegeka enkuŋŋaana Ttabamiruka, nnungi nnyo era tugisiima; eyamba abantu baffe okutambulira awamu ng’abaana abenda emu.
Omulamwa gw’omwaka guno 2026 ogugamba nti; “Okukuuma Ennono n’Okwekulaakulanya ku Mawanga” gutujjukiza ebintu ebikulu nga bino:
Ekisooka; muli ku mawanga era nga mubeera n’abantu bangi abalina ennono zaabwe. Awo nno, obuvunaanyizibwa bwammwe okukuuma ennono zaffe butiribiri tuleme kuzaawa. Kyokka musaana okussa ekitiibwa mu nnono z’abo be mubeera nabo.
Ekyokubiri; temusobola kweyagalira ku mawanga nga temwezimbye. N’olwekyo, musaana okubaako eby’enkulaakulana bye mukola nga ba ssekinnomu, oba bye mukolera awamu, kibaweese ekitiibwa eyo gye mubeera.
Ekyokusatu; bulijjo mujjukire eka, gye mwava. Kiba kirungi mubeere n’enteekateeka eŋŋenderere ebasobozesa okusigala nga muwuliziganya n’abeeka, ab’enju zammwe, ate n’abakulembeze b’Obwakabaka.
Ekyokuna; kirungi okugoberera n’okwetaba mu ntambuza y’emirimu mu Gavumenti ya Kabaka kibayambe okutegeka obutego bw’abalabe baffe era n’okusobola okwekukuumira awamu ng’Obuganda.
Twebaza Ababaka ba Kabaka, Abamyuka baabwe n’Abakulembeze ku nkiiko zaabwe mu mabendobendo g’obukulembeze mu Bulaaya okuli Rhinelands, abatukyaazizza; Bungereza; ne Sweden/Scandinavia. Twebaza n’abavudde mu ssemazinga ez’enjawulo abafaayo ennyo okukunga abantu ba Buganda ne bannywanyi baffe okuteekateeka n’okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka. Mwebalire ddala!

Twebaza abateesiteesi ba Ttabamiruka wa BBECO ow’omwaka guno 2026, n’abo ababakwatiddeko, ssaako abantu b’e Bugirimaani awatudde Ttabamiruka.
OLUKUNGAANA NDUGGUDDEWO!Katonda abakuume!
Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA