Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Abantu ba Kabaka bakubiriziddwa okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enkulaakulana ezireeteddwa mu bitundu byabwe okugoba obwavu.

Bw’abadde atikkula oluwalo oluleeteddwa embuga okuva mu Ggombolola ez’enjawulo mu Ssaza Kkooki, Minisita wa Bulungibwansi, Butondebwansi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, agambye nti oluwalo si ssente zokka wabula kabonero akalaga obwesige, obumu n’okwagala eri Obwakabaka era ensimbi ezireetebwa ziyambako nnyo Obwakabaka okutambuza emirimu gy’abwo okugaziya empeereza n’okukuuma obuwangwa.
“Buli muntu bwavaayo neyenyigira mu kuwayo oluwalo, Obwakabaka bwongera okunywera, eno y’ensonga lwaki tukubiriza abantu bonna okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ezitali zimu”, Minisita Mariam Mayanja, bano era abakuutidde okukuuma obutonde okusingira ddala ku nnyanja ya Kijjanabalola e Kkooki wamu n’okusimba emiti, bagirabirire kubanga giyamba ku mbeera y’obudde ereeta enkuba mu bitundu bye babeeramu.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki yebazizza abakiise embuga okuba abamalirivu mu kwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka nti kano kabonero ak’enkukunala akooleka okuwangula abo abasekeeterera Obwakabaka.
Omwami wa Kabaka amulamulirako Ggombolola Mutuba II Kifamba Mw. Ssenkaayi Simon, asabye Kamalabyonna okubalambulako mu Ssaza Kkooki olw’ennyonta eri mu bantu nga kino kya kusikiriza abantu ab’enjawulo okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna.

Ggombolola nga bwezikoze okuva mu Ssaza Kkooki; Mutuba I Kyalulangira 1,120,000, Mutuba II Kifamba 800,000 ne Ssaabaddu Lwamaggwa 2, 600, 000.