Obulungi butandika na mpisa, Minisita akuutidde Bannalulungi

Amawulire Jul 02, 2026
Share This

Bya Jjuuko Huzairu Wasajja

Mmengo – Kyaddondo

Abawala abavuganya ku bwa Nnalulungi w’Ebyobulambizi mu Buganda 2026 banjuddwa eri Obuganda leero era bayingidde enkambi.

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole ky’ebyobulambuzi buli mwaka busunsula abawala okuva mu Masaza ag’enjawulo ne bakiikirira amasaza gaabwe okuvuganya okulaba abasukkuluma ku balala, olwo abo ne bakwata omumuli gw’okutumbula eby’obulambuzi bya Buganda.

Minisita w’Amawulire, n’Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Kazibwe Israel Kitooke y’akulembeddemu omukolo guno ng’akiikiridde Minisita atwala eby’obulambuzi mu Buganda Owek. Anthony Wamala.

Owek. Kazibwe akuutidde abawala abeesowoddeyo okuvuganya ku bwa Nnalulungi okufaayo okumanya empisa wamu n’ennono zaabwe, okumanya ebyafaayo bya Buganda olwo basobole okukiikirira ekyo kye bategeera obulungi.

“Eky’okubeera nnalulungi tekikoma ku bulungi bwa kungulu bwokka wabula tugattako n’ebintu ebirala, olina okuba nga osaza mu bwongo, olina okubeera nga omanyi ebintu bingi okugeza mulina okumanya bwe babuuza abantu, n’okufumba no nakyo kikulu okumanya kubanga era abasajja balina okubawasa, omusajja anaakuwasa atya nga tomanyi kufumba ensonga eyo nkulu mulina okugigoberera” Minisita Kazibwe.

“Obwakabaka bulina ebyafaayo bingi nnyo era biwerera ddala, etterekero lyebitabo ly’Obwakabaka weriri ku kitongole ky’ebyobulambuzi, ebitabo byonna ebyogera ku Buganda gye yava byonna osobola okubifuna, tulina n’ebintu bingi nnyo eby’obulambuzi okuli ennyanja ya Kabaka, ebyo byonna byafaayo mulina okubimanya kubanga twagala mugende mwogere ku bintu byaffe buongere okumanyika ate n’okubawa emirimu” Minisita Kazibwe.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Jjajja Augustine Kizito Mutumba, oyozaayozezza Bannalulunji olw’okutuuka ku kkula lino era n’abasaba obutakoma ku mutendera guno gwokka wabula bafube okutuuka ku mutendera gw’ensi yonna nayo bagende bavuganye. Yebazizza abazadde b’abaana bano okubalabirira obulungi ate n’okubawagiranga mu nteekateeka nga zino.

“Tubasaba mwenyumirize mu buwangwa bwammwe kubanga obuwangwa bwammwe Katonda bweyabatonderamu, era Katonda y’Atutonda n’Atuwa olulimi lwaffe oluganda n’olwekyo tusaana okulweyagaliramu, wabula mmwe bannalulungi mmwe mulina okutuyamba okulutumbula nga mukola ebyo ebisaanidde mu mpisa n’ennono za Buganda” Omutaka Nnamwama.

Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board Omuk. Najibu Nsubuga, ategezezza nti enteekateeka eno yayita mu mitendera egy’enjawulo era nga essira lyassibwa nnyo mu matendekero ag’awaggulu naddala ag’Obwakabaka, bwatyo akakasizza nti abavuganya ku bwannalulungi ku mulundi guno, baayisibwa mu kasengejja okulaba nga basunsula abo bokka abali ku mutindo ogusaanidde.

Ssenkulu wa New Destiny Property Services, Mw. Muwanguzi Peter era nga ye muvvujirizi omukulu ow’omulundi guno, yebazizza Obwakabaka olw’okutandikawo enteekateeka eno, ategeezeza nti ekyamusikiriza okusitukiramu okwetaba mu nteekateeka eno kwe kuwagira okutumbulwa kw’ebyobulambuzi bya Uganda.

Muwanguzi ategezezza nti ku mulundi guno omuwanguzi wakuweebwa ekyapa ky’ettaka era ettaka lyamala dda okulambulwa lirinze nnyini lyo kuliwangula.

Bannalulungi bagenze mu nkambi gye bagenda okumala ekiseera ekissukka mu ssabbiiti bbiri nga babangulwa n’okutendekebwa mu bintu eby’enjawulo okulaba nti bavaayo nga bali ku mutindo ogusaanidde.

Omukolo omukulu ogw’okutongoza gubadde ku kitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board era nga gwetabiddwako Omumyuka Asooka owa Mukwenda omwami Moses Tusuubira Nyombi, bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka, bannalulungi ab’emyaka egiyise wamu n’abo abavuganya n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE