Okusabira Ssaabasajja Kabaka olw’emyaka 33 ku Nnamulondo, e Kibuli

Amawulire Jul 24, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Kibuli – Kyaddondo

Okusabira Kabaka mu muzikiti e Kibuli, ng’emu ku nteekateeka z’okujaguza Amatikkira ga omulundi ogwa 33, leero Abasiraamu basabidde Ssaabasajja Kabaka oluvannyuma lw’okusaala Jumah.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asomye obubaka bwa Katikkiro eri abaddu ba Allah, ate Super Supreme Mufti Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi y’akuleddemu edduwa eri Beene.

Okusabira Maasomoogi kwetabiddwamu Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh Ibrahim Ntanda, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa, Abaami ba Kabaka ab’enjawulo, n’abaddu ba Allah bangi ddala.

Mu bubaka bwa Katikkiro yebazizza nnyo Katonda omuyinza w’ebintu byonna atusobozesezza okutuuka ku mukolo guno ogw’okwebaza olw’emyaka 33 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo ya bajjajjaabe.

“Emyaka gino 33 gibadde gya kuzzaamu bantu ba Buganda amaanyi, nga tuyita mu kutumbula obumu, enkulaakulana, obulungi bw’obuwangwa ate n’okubalengeza ebiri mu maaso. Twebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’obukulembeze obw’amagezi, obw’obwegendereze n’okwagala abantu be.Okujjukira Amatikkira okw’omulundi guno kuli ku mulamwa ogugamba nti: “Tubeere Bavumu mu Kukuuma Obuwangwa Bwaffe.” Obuwangwa gwe musingi gwa byonna bye tuli ng’abantu ba Kabaka.” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti wateekwa okubaawo okuyigiriza empisa ennungi, obuvunaanyizibwa, okwagala amaka, okukolera awamu n’okussa ekitiibwa mu bakulembeze n’abantu bonna mu mulembe guno ogw’enkyukakyuka ez’omujjirano, kubanga waliwo ebintu bingi ebiyinza okusaanyawo obuwangwa. Bwatyo asabye buli omu okubeera omuvumu mu kukuuma olulimi, empisa ennungi, ennono, n’okuyigiriza abaana n’abavubuka empisa ezizaala eggwanga eddamu, awatali kukkiriza kuwugulwa kwonna.

“Obuvumu bwe twogerako si bwa kulwanagana, wabula bwa kuyimirira ku kituufu, okulaga eky’okulabirako ekirungi, n’okwewala empisa zonna ezivvoola obuwangwa bwaffe. Tukubiriza abazadde okuddamu okubeera abasomesa ba baana baabwe abasooka mu by’obuwangwa n’empisa. Tukubiriza n’abavubuka okwettanira ennono n’okubeera abavumu mu kukuuma eby’obusika bwaffe.” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro yebazizza abakulembeze b’eddiini ez’enjawulo olw’essaala zonna, obuwagizi n’okutambulira awamu n’Obwakabaka. Asabye abaagaliza Buganda ebirungi okweyongera okwegatta mu kaweefube w’okukuuma obuwangwa, okutumbula obumu, n’okukolera awamu mu kusitula Omutindo okusobola okuzza Buganda ku Ntikko.

“Ku lwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, ku lw’Obuganda bwonna, ate ne ku lwange njozaayoza mukama wange, Ssaabasajja Kabaka okuweza emyaka 33 ng’alamula Obuganda!” Kamalabyonna Mayiga.

LANGUAGE