Bya Musasi waffe
Washington DC – America
Abantu ba Kabaka mu Ssaza Mid Atlantic America, bakungaanidde mu kibuga Washington DC okujaguza olunaku lwa Buganda.

Mu bikoleddwa okujaguza olunaku luno kubaddeko; okujjukira amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33, okubangulwa ku bukulu bw’Ebika n’obuwangwa bw’Abaganda, era baayisizza ekivvulu ky’Ebika, n’Abaami baasomeseddwa engeri gyebasobola okumanya omwana gwazaala nga bakozesa enkola y’okukebera ebigere.
Enteekateeka eno yakulembeddwamu ab’ekibiina ki Ggwanga Mujje abaakozesezza omukolo guno okwanjula abo abeesowoddeyo okuddukanya emirimo gya bboodi y’ekibiina kino. Ssaza lino likulemberwa Oweek. Margaret Muwonge n’amyukibwa Mw. Robert Kajoba ne Muky. Suzan Nakazibwe Kalule.

Oweekitiibwa Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, asanyukidde olukungaana luno n’agamba nti kikulu nnyo okusisinkana nga ab’oluganda ab’Enda emu neboogera ku mirandira n’ensibuko y’abwe kubanga tuli baana ba Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Oweek Kawuki abakubirizza okunywerera ku nsonga Ssemasonga ettaano bazeekwate zibayambe okwanganga bannakigwanyizi abaagala okusaanyawo obwakabaka nga babunyisa obulimba, era bafeeyo nnyo okumanya amawulire agafa embuga, bagasasaanye mu bantu ba Buganda bongere okutegeera ebitambula mu bwakabaka olwo n’abasekeeterera Buganda babulwako eby’okwogera. Ekika ky’Engabi kye kisukkulumye ku birala era kyaweereddwa ekirabo ekibasiima.
