Abantu ba Kabaka mu Ssaza Midwest America batongozza enkola ya ” Sooka ojjeko eza Kabaka “

Amawulire Sep 22, 2026
Share This

Bya Musasi waffe

Chicago – America

E Ssaza lya Kabaka li Midwest America litongozza enkola ya “Ssooka ojjeko eza Kabaka”, mwe bagenda okuyita okukubiriza abantu okujjumbira emirimo gya gavumenti ya Kabaka.

Muno mulimu; luwalo lwaffe, n’enteekateeka ezitali zimu. Enteekateeka etongozeddwa ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Buganda mu Ssaza lino era nayo bakoze ebintu ebiwerako nga okujjukira amatikkira ga Beene ag’omulundi ogwa 33, n’ebirala.

Bano era bavuddeyo n’enteekateeka ya Etasiima n’ekigendererwa eky’okwagazisa abantu okwenyigira mu mirimu gy’obwa Nnakyewa naddala abavubuka. Omwami alamulirako Beene e ssaza lino, Oweek. Abdul Aziz Wasswa Ddamulira n’omumyuka we Mw Robert Kiggudu, be bakoze ku nteekateeka z’omukolo ogwayindidde mu kibuga Chicago.

Oweek Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, ayogeddeko eri abantu bano era obubaka bwe abwesigamizza ku mulamwa gw’okujjukira amatikkira g’omwaka guno, “Tubeere bavumu mu kukuuma obuwangwa bwaffe”, n’abalaga nti eyo gye bawangaalira waliyo abantu bangi nnyo abalumba obwakabaka nga boogera ebitaliimu nsa ku Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda okutwaliza awamu.

Wabula abajjukizza obubaka bwa Kabaka bwe yawa mu ttabamiruka wa Buganda Bumu North American Convention mu 2021, Omuteregga yategeeza nti waliyo abantu abamu abavaayo mu biseera eby’enjawulo ne balaga nti bbo baagala nnyo Obuganda era babutegeera nnyo okusinga abalala, omutanda n’atugamba nti abantu abo batume era tubeegendereze.

Oweek Joseph Kawuki asinzidde ku bubaka buno n’agamba nti bannakigwanyizi bano baagala kubamalamu maanyi bave ku bwakabaka bwabwe badde ku birala era bagenderera okusiga obukyayi mu bantu bbo bennyini balwanyise obwakabaka babusanyewo nga bannanyinibwo bennyini be babusaanyizzaawo.

Olunaku lwa Buganda lukuzibwa buli mwaka mu bitundu bya America eby’enjawulo, ku mulundi guno omukolo gwabadde ku mulamwa “Obuteerabira buwangwa bwaffe”.

LANGUAGE