Bannalulungi b’Obwakabaka bayunjiddwa ku Tubeere Balamu Yinsuwa

Amawulire Sep 22, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Omukwanaganya w’by’obuwangwa n’ennono mu Kabaka Foundation, Arthur Kalumba, ategeezezza nga Beene bweyasiima bannalulungi abasatu abaasukkuluma ku balala bayungibwe ku yinsuwa y’ebyobulamu basobole okufuna obujjanjjabi ku bwereere okumala omwaka mulamba.

Yeyamye okutambula ne Buganda Heritage and Tourism Board okutumbula eby’obuwangwa nga bayita mu bannalulungi n’okwongera okusitula embeera y’ebyobulamu mu bantu Kabaka basobole okweyagalira mu nteekateeka za Ssaabasajja Kabaka.

Najib Nsubuga, Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, yebazizza Ssaabasajja Kabaka okutandikawo ekitongole kya Kabaka Foundation ekikoze ebintu ebiyamba abantu be naddala eby’obulamu.

Agamba nti awatali bulamu tewali kisobola kukolebwa n’akikaatiriza nti abantu bakaluubirizibwa okwetuusaako obujjanjjabi naye enteekateeka eno eya Tubeere balamu egondezza mu bantu nga bawayo ensimbi ensaamusaamu basobole okufuna obujjanjjabi wonna webafuniramu enkenyera.

Nabasumba Rahma Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda, akunze abantu ba Kabaka yonna gyebali okujjumbira Yinsuwa y’ebyobulamu kubanga obulamu bwabwe bukulu nnyo eri ab’enganda ne mikwano gy’abwe.

LANGUAGE