Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Omusomo ku nnono, obuwangwa n’empisa ogutegekebwa Bajjajja Abataka Abakulu Ab’Obusolya gutongozeddwa nga gwesigamiziddwa ku mulamwa “Omubumbirano mu kukuza Omwana”Omusomo guno gutongozeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, n’annyonnyola nti omusomo guno gutegekebwa okubaako ensonga ze tutunuulira n’enkaliriza ku ludda lw’Obuwangwa n’ennono, era kikulu nnyo omuntu okubaako kyayiga era oyo akoowa okuyiga abeera asenzezza obutamanya mu mutwe.

Kamalabyonna akayuukidde abazadde abakuza abaana n’olusuusuuto n’agamba nti kino kyongedde okubajja ku mulamwa gw’okutegeera obuwangwa bwabwe.
Mukuumaddamula agamba omwana alina okukuzibwa nga amanyi omukulu w’Ekika kye, amanyi obutaka gyebusangibwa, n’embonereza y’Abaana nayo esaana okutunulwamu naddala abo ababonereza omwana obutamuwa mmere nti kino kikyamu eri omwana, wabula awabudde nti omuzadde anaagunjula obulungi abaana asaana agye mu musomo guno abangulwe tusobole okufuna omwana atuukiridde ow’omulembe Omutebi.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Abakulu Ab’Obusolya, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, annyonnyodde nti bagenda kusomesa ku mitwe esatu okuli;
1). Okuzaala omwana, ekyogero, abazadde engeri gyebeeyisaamu, okuteekateeka essanya,
2). Abantu abalala abalina akakwate ku maka gaffe n’enkuza y’omwana.
3). Abaana ku ssomero, agamba obudde obusinga obungi omwana abumala ku ssomero, mu mbeera eyo balina okubaako kyebakola okulaba nga essomero lyegatta mu mubumbirano mu kukuza omwana.

Oweek Anthony Wamala asabye Abataka n’abakulembeze mu Bika okujjumbira enteekateeka eno okulaba nga batambuza obukulembeze mu Bika mu ngeri ey’omulembe.
Yebazizza Bajjajja Abataka Abakulu b’Obusolya, olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’abwe bbo nga abakuuma ennono okuteekerateekera abazzukulu ensonga ezikwata ku buwangwa n’ennono.
Ssentebe w’enteekateeka z’omusomo guno, Omutaka Nsamba, Aloysius Magandaazi Lubega, akoowodde abavujjirizi ab’enjawulo bajje betabe mu musomo guno ogusuubirwa okwetabamu abawerako.
