Airtel Uganda n’Obwakabaka bwa Buganda banywezezza omukago gwabwe

Amawulire Sep 22, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Airtel Uganda n’Obwabakabaka bwa Buganda banywezezza omukago gwabwe ogw’okukolera awamu.

Obwakabaka bwa Buganda ne Kkampuni y’ebyempuliziganya eya Airtel mu mwaka gwa 2014 batta omukago okukolera awamu emirimu naddala egyo egikyusa obulamu bw’abantu mu Buganda n’egyo egireetawo obumu n’ekigendererwa eky’okuzza Buganda ku ntikko.

Omukago guno guzzibwa buggya buli luvannyuma lw’emyaka 3, ne ku luno abanywanyi ababiri bano bazizza buggya omukago gwabwe emyaka emirala 3 okutuuka 2028.

Katikkiro Charles Peter Mayiga abaddewo nga omujulizi nga omukago guno guzzibwa buggya, n’alaga ebibala ebivuddemu omuli; okulwanyisa endwadde nga mukenenya, Nalubiri, fistula, nga bayita mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, okuvumbula ebitone by’abavuvuka okuyita mu mpaka z’amasaza n’Ebika nga byonna biraga nti Airtel eteeka ekitiibwa mu ndowooza za Baganda.

Mu myaka esatu egiddako, Kamalabyonna agamba baakwongera okugaziya emirimu nga baluubirira okugundiira mu kisaawe ky’ebyenjigiriza ne mu by’enfuna ebiyingiza ensimbi okugeza amazzi n’ebiringa ebyo.

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa agamba nti omukago okuzzibwa obuggya twetaaga n’okulinnyisa omutindo mu mpeereza ya tekinologiya eri ba Kabaka.

Ssenkulu wa Airtel Uganda Soumendra Sahu alaze nti nga bayita mu mukago guno batandiseewo emirimu naddala mu bavubuka, basomesezza abantu okwetandikirawo bizinensi wamu n’okulaakulana mu nsi ya tekinologiya kale basuubira bingi mu myaka 3 egiddako.

Ssenkulu wa Majestic Brands Omukungu Remmie Kisakye, alambuludde olugendo lwe batambudde ne Airtel olw’emyaka 12, lw’agamba nti lukyusizza enkola y’emirimu okuva ku bantu obukadde 4 okutuuka ku bantu obuladde 11.

Ono alaze nti buli ludda mu mukago guno lufubye okutuukiriza obweyamo bw’alwo ekivuddemu ebirungi ebitabalika.

Omumyuka wa Katikkiro owookubiri era Omuwanika w’Obwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, baminisita; Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Noah Kiyimba wamu n’abaweereza b’Obwakabaka ku mutendera gw’ekikugu babaddewo nga abajulizi nga omukago guno guzzibwa buggya.

Kkampuni ya Airtel ye muvujjirizi omukulu ow’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, amazaalibwa, amatikkira, okusiibulula abayisiraamu, empaka z’Ebika n’emipiira gy’amasaza.

LANGUAGE