Abaami Abaamasaza basabiddwa obutasosola mu bantu ba Kabaka

Amawulire Jul 09, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro asabye Abaami Aba Masaza obutasosola mu bantu ba Kabaka kubanga Obwakabaka si bwe busalirawo abantu ku bye baagala.

Okwogera bino Katikkiro Charles Peter Mayiga, abadde mu nsisinkano n’Abaami ba Masaza okubaako by’abalambika mu ntereeza y’emirimu gy’Obwakabaka. Agambye nti omwami wa Kabaka alina okukolagana na buli muntu awatali kusosola mu ddiini, ebibiina by’obufuzi, amawanga, kubanga buli muntu alina eddembe okuwagira ekyo ky’ayagala, era ne mu kulonda ba Ssentebe b’ebyalo okubindabinda asabye Abaami ba Masaza okukubiriza abantu balonde abakulembeze abanaabayamba ku byalo byabwe naye tebabasalirawo ani gwe baba balonda.

Ku nsonga y’ebyenfuna, Katikkiro agamba Abaami basobola okukozesa embuga zaabwe okukolera emikolo egipangisibwa essaza ne liyingiza ensimbi, okulima emmwanyi lwakiri yiika 10 buli Ssaza, okutumbula eby’obulambuzi mu Ssaza nga bali wamu n’ekitongole ky’e by’obulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board, singa Abaami bettanira enteekateeka ezo amasaza gasobolera ddala okukulaakulana.

Mu mbeera y’okusitula omutindo mu buweereza, Kamalabyonna abakuutidde okwettanira tekinologiya basobole okutambula n’omulembe oguliko. Mu ngeri yeemu Kamalabyonna akubirizza Abaami okunyweza empuliziganya nga Abaami naddala nga bagoberera emitendera gy’obuweereza okuva ku mutongole okutuukira ddala waggulu, ekyo bwekitakolebwa emirimu giyinza okulema.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki yebazizza Katikkiro olw’okussaawo enkola ey’okusisinkananga abaweereza Kabaka be yamukwasa mu biti eby’enjawulo okwongera okunyweza obwasseruganda, empuliziganya, okubatuusaako agafa embuga ate n’okubalambika okulaba nga bonna batambulira ku muko gwe gumu. Yebazizza Abaami ba Kabaka olw’okukola entakera awatali kwebalira emirimu negisobola okutambula.

Ku lwa Minisitule gyakulembera, Oweek Joseph Kawuki yeyamye okusitula omutindo gw’Abaami ku mitendera gyonna okutuukira ddala wansi ku batongole okusobola okutambulira mu nkola obwakabaka gye butembeeta omwaka guno eya “situla omutindo”.

Ssentebe w’Abaami Abaamasaza era Omwami w’essaza Bulemeezi, Kangaawo, Oweek Ronald Mulondo, ategeezezza Kamalabyonna nti Abaami bawulize eri Nnamulondo era bali bumu mu ntambuza y’emirimu.

Buli mwaka Katikkiro afunayo olunaku olw’enjawulo n’asisinkana Abaami aba Masaza okwongera okwegeyamu ku ntambuza y’emirimu egy’embuga.

LANGUAGE