Bya Miiro Shafik
Nkozi – Mawokota
Ekyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka 2026 kitongozeddwa leero, kyakubaawo nga 11/09/2026 ku Hotel Africana.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere n’Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa be batongozza Kaliisoliiso Dinner 2026 ku mukolo ogutegekeddwa ku ddwaliro e Nkozi ewazimbibwa ekifo ewatuukirwa abafunye obubenje naddala ku luguudo lw’e Masaka.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere mu kubuulira kwe yebazizza abantu n’ebitongole abongera okuwagira omulimu guno okulaba nga gugguka, kyokka asabye Bannayuganda okwongera okubeera abegendereza ku nguudo bewale obubenje. Ono alaze obwerariikirivu okuba nti ebibalo byongera okulaga omuwendo gw’abantu abafuna obubenje ogwongera okulinnya buli kiseera.
Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. PDG Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti Obwabakaba bwa Buganda bwa kwongera okuwagira enteekateeka zonna ez’ebyobulamu mu ggwanga okusobola okukyusa embeera z’abantu mu ggwanga.
“Obwakabaka bwa Buganda butambuliza emirimu ku nteekateeka nnamutayiika erimu ebiruubirirwa 18, nga ekiruubirirwa eky’omunaana kya kutuusa obuweereza obw’obujjanjabi obw’omutindo eri abantu era nga enteekateeka y’ekyeggulo kya Kaliisoliiso eruubirira okutaasa abagwa ku bubenje egwira ddala mu kiruubirirwa kino” Owek. Nsibirwa.

Owek. Nsibirwa asinzidde wano naye okwebaza abantu n’ebitongole ebizze biwagira omulimu guno wabula n’ategeeza nti nga Obwakabaka bwe buli mu nteekateeka ya Situla Omutindo, kati buli omu asaana okukubisaamu mw’ekyo ky’abadde awaayo eri omulimu guno gusobole okukomekkerezebwa mu bwangu.
“Ekiseera kituuse abadde bagula emmeeza ez’obukadde obusatu okudda ku butaano ate ab’obutaano badde ku kkumi, tusobole okumaliriza omulimu guno mu bwangu” Owek. Nsibirwa.
Ye Ssenkulu wa Radio CBS Omuk. Micheal Kawooya Mwebe agambye nti, CBS ng’ejaguza emyaka 30 bukyanga etandikibwawo, essira ku mulundi guno lyakusibwa nnyo ku kusomesa abantu ku ngeri y’okwewala obubenje ku makubo era enteekateeka yayanjuddwa dda eri abaweereza bonna naddala abakola ku mpewo, okuwaayo obudde okujjukiza abantu ku nsonga y’obubenje n’okubasomesa okubwewala.
Akulira eddwaliro lya Nkozi Dr. Crescent Tumuhaise agambye nti omwaka guno beetaga ensimbi akawumbi kalamba yebazizza abantu abazze bawagira omulimu guno gw’agambye nti gusenvulidde ddala, wabula gwetaaga okwongera amaanyi okuggusibwa mu budde.
“Omwaka guno olukiiko oluteesiteesi luluubirira okukungaanya akawumbi kalamba omulimu gwongere okutambula kubanga eddwaliro wetwogerera lirina ebitanda bibiri byokka eri abo abafunye obubenje kyokka nga waliwo ekiseera bwe kituuka nga tufuna abalwadde abasukka mu 10, kino kiraga obwetaavu bw’okumaliriza ekifo kino” Dr. Tuhaise.
Rtn. Jane Kabugo ku lwa Rotary Clubs Uganda ategeezezza nti baakugula ebyuma byonna ebyeetagisa okuteeka mu ddwaliro lino nga bibalirirwamu ensimbi akawumbi 1 awamu n’okutendeka abasawo abagenda okubikozesa, kyokka era akunze banna-rotary mu bibiina byabwe eby’enjawulo okwongera okuwagira omulimu guno nga bagula emmeeza n’okuwaayo nga bayita mu nkola ez’enjawulo. Ono ategeezezza nti Rotary District 9213 omwaka guno yagguwaayo okuteeka essira ku kulwanirira abantu okutambulira obulungi ku nguudo, era ategeezezza nti mu ngeri eno n’enteekateeka y’ekyeggulo kya Kaliisoliiso bagirimu nnyo.
Bannamukago ab’enjawulo bongedde okuwa obweyamu bwabwe mu kuwagira omulimu guno okugguka era Rtn. Beatrice Lugalambi ku lwa Centenary Bank ayanjudde cheque ya bukadde kikumi ze bawaddeyo okuwagira omulimu guno, ne Mildred Kasirye akulira Trade and Retail mu MTN naye awadde obweyaamu ku lwa kkampuni nti bakwongera okuwagira enteekateeka eno, era naye nabo batandise n’obukadde 100 omwaka guno ne batekawo n’enkola abantu mwe basobola okuyita okuwagira omulimu guno.

Omukolo gw’okutongoza ekyeggulo kya Kaliisoliiso 2026 gwetabiddwako Hon. Teddy Nambooze, Owek. Richard Kabanda, Hajj Hassan Kagga, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannaddiini, Bannabyabufuzi, banna-Rotary, abakozi okuva ku CBS n’abantu abalala bangi ddala. Waddewo n’okusamba omupiira wakati w’Abakozi ba CBS n’aba Nkozi Hospital wamu n’aba MTN nga battunka n’abatuuze b’e Nkozi.
Ekyeggulo kya Kaliisoliiso omwaka guno kyakubaawo nga 11/09/2026 ku Hotel Africana.