Bya Gerald Mulindwa
Kyaddondo
Oweek Choltilda aggaddewo omusomo gw’abakulembeze b’Ennono ku kwetangira ebibamba ebigwa bitalaze ogubadde guyindira ku Jevine Hotel mu Ndeeba.

Abakulembeze bano bagabanye amagezi n’engeri gye bayinza okukkakkanya ebibamba ebijjira abantu yadde si basawo nti bagaba eddagala, naye eddoboozi lyabwe lituukira ddala ku bantu awonno baagala bakozese omuwatwa guno okuddayo eri abantu babakuutire okwewala engeri zonna eziyinza okubaleetera akatyabaga naddala ebirwadde nga Ebola.
Bw’abadde aggalawo omusomo guno, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, agambye nti bakwongera okukwatagana n’Obukulembeze bw’Ennono obutali bumu okulaba nga abantu ba Uganda babeera balamu.
Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation, Omukungu Andrew Adrian Mukiibi, agambye nti gavumenti erina okusomoozebwa okw’ebbeeyi y’ebirwadde ebigwawo, nekizuulibwa nti waliwo obwetaavu obw’okukendeeza ku nsasaanya ya gavumenti n’Amaka gaffe mu kwetangira endwadde ezisoboka, eno y’ensonga eyaleese abakulembeze bano awamu okusalira embeera eyo amagezi okukendeeza ku muwendo gw’Abantu abakosebwa.
United Nations Development Program, ekitongole ekitakabanira embeera z’omuntu wa bulijjo, kyavaayo okunogera embeera y’ebibamba eddagala nga kiyita mu bukulembeze obw’Ennono kubanga butuukira ddala ku muntu akwatibwako embeera bweziti ezirimu okusomooza kwa ebibamba.
Abakulembeze okuva mu bwakabaka bwa Buganda, obukama bwa Tooro, Bunyoro, ne Obusinga bwa Rwenzururu, be beetabye mu musomo guno.