Bya Gerald Mulindwa
Nkola ya buli mwaka, Ggwangamujje Boston Chapter okumanyisa, okugunjula, n’okunnyikiza obukulu bw’Okukuuma ennono za Buganda mu baana abato ababeera mu Ssaza lya Ssaabasajja li New England, Massachusetts mu America.

N’omwaka guno enteekateeka ya “Tugunjule Emiti Emito” ey’olunaku olumu eyindidde ku ssomero lya Francis Wyman. Bw’abadde aggulawo Olusiisira luno, Omumyuka w’Omubaka Omuk. Fiona Nattabi Kafeero akubirizza abaana okwagala Kabaka wabwe, obuwangwa n’ennono za Buganda, Ebika byabwe, okuba n’empisa awamu n’obuntubulamu.
Fr. Alex Kafuuma akaatirizza obukulu bw’Obuwangwa mu Buganda era n’ategeeza nti Ennono n’empisa biyamba abantu okubeera awamu mu mirembe n’okussa ekitiibwa mu bantu abakulu n’abantu abalala. Abaana baasomeseddwa ebikwata ku buwangwa bwabwe, okuwaata n’okusiba emmere, okuluka emikeeka, okukola abaana mu byayi, okukola emipiira mu byayi, okukola ebiwempe, okukuba engoma enganda, obuyonjo, n’endwadde z’emitwe eziva mu kukozesa ebiragalalagala.
Enteekateeka za ekisaakaate kino zakulembeddwamu Muky. Rhonah Nakalyowa omumyuka wa Ssentebe wa Ggwangamujje Boston.
Olusiisira luno lwetabiddwamu Omubaka wa Ssaabasajja owa New England. Owek. Henry Ndawula, Omubaka eyawummula , Oweek. Kato Kajubi n’Omukyala, Omuk. Fiona Kafeero Nattabi, Ssentebe wa Ggwangamujje, Omuky. Rebbecca Nansasi, olukiiko lwa Gggwanamujje, n’abagunjuzi bangi.

Ggwangamujje esiimye abazadde olw’omuwendo gw’abaana ogweyongedde okwenyigira mu nteekateeka eno, era ne basaba Abazadde okuyambako abaana okuteeka mu nkola ebyo ebiyigiddwa nga bali awaka, era beebaza abavijjirizi bonna ababakwatiddeko mu nteekateeka eno.