Abaami ba Kabaka bakubiriziddwa

Amawulire Nov 06, 2025
Share This

Bya Francesca Naluwugge

Ndeeba – Kyaddondo

Hajj Hassan Kasujja Kagga Omwami akuuma entebe y’obwa Kayima n’Omumyuka we Dr. Mujuzi Pizaroh bategese olusirika lw’abakulembeze b’Essaza Mawokota oluyindidde ku Pope Hotel mu Ndeeba.

Kaggo Owek. Hajj Ahmed Magandaazi Matovu y’akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka Owek. Joseph Kawuki era mu bubaka bw’amutisse, asabye Abaami n’abaweereza obutava ku Kabaka era n’abajjukiza nti obuweereza bwe baliko nnyini bwo ye Ssaabasajja Kabaka, bwatyo abasabye okubeera abakozi n’okukozesa obulungi obuvunanyizibwa obwabakwasibwa, okugabana obuyinza okuva waggulu ku Kayima okutuuka wansi ku butongole.

Minisita Kawuki era abakuutidde Abaami ba Kabaka okugoberera ennyo ennambika y’Obwakabaka bewale okukola ensobi, era abasabye okussa ennyo essiri ku butongole wansi ng’akikaatiriza nti guno gwe musingi gw’obuweereza mu Buganda.

Ku lulwe, Kaggo Magandaazi akubirizza abaami okussa buli kye bakola mu buwandiike okusobola okuyambako abaliddawo okutuusa obuweereza obuluŋŋamu nga beesigama ku byafaayo, abasabye okuwabuligana mu buweereza, n’okubeera abakozi ennyo basobole okusitula essaza lyabwe.

Hajj Hassan Kasujja Kagga yebazizza nnyo Minisita olwokukkiriza okubawa emisomo nga gino era n’amusaba okugenda mu maaso nagyo.

Olusirika luno lwetabiddwamu Abaami ba Kabaka ab’eggombolola n’abamyuka baabwe, olukiiko lw’essaza olukozi lw’emirimu, Omutesiteesi w’essaza wamu n’abalezi okuva mu Masaza agenjawulo nga bakulembedwamu Mukyala Nakanjako Alexa.

LANGUAGE