Abaami ba Kabaka mu Kyaddondo Babanguddwa

Amawulire Oct 06, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Kasangati-Kyaddondo

Abaami ba Kabaka mu sazza Kyaddondo babanguddwa ku kunyikiza obukulembeze nga omusomo guno gutambulidde ku mulamwa ogwa ‘Tunyikize Bulungibwansi n’Obukulembeze bw’ebitundu nga twettanira tekinologiya mu bavubuka’ nga bano bakunganidde ku kitebe ky’Essaza e Kasangati.

Omusomo guguddwawo Minisita w’Amawulire Israel Kazibwe Kitooke anyonyodde nti Ssaabasajja yenyumiririza mu baweereza be bonna kuba empagi zonna eziwanirira Buganda bbo be balina okuyimirirawo, okulwanirira n’okutaasa ekitiibwa kya Nnamulondo.

“Ssaabasajja Kabaka atwenyumirizaamu nnyo mu buweereza bwetukola obw’empagi essatu ezifuga Obwakabaka omuli olulyo Olulangira, ffe abaami ne bajjaja ffe Abakulu b’Ebika, amanyi nti ezo empagi zisobolerera ddala okuyimirizaawo Obwakabaka, mujjukire nti ssemasonga asooka ali ku kukuuma n’okutaasa Nnamulondo nga obuweereza bwonna buluubirira kukuuma Ssaabasajja” Owek. Kazibwe bw’alambise.

Minisita Kazibwe alaze nti Obuwangwa bwa Buganda butambulira ku Ssaabasajja era mu buli kye tukola tulafubane okumusoosowaza nga n’amawanga amalala bwe galina bye gasoosoowaza.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Joseph Kawuki ajjukiza abaami ku nkwata y’abasekeeterera Obwakabaka nga bano abasabye okukubiriza abantu okulonda abo abawulirize eri Nnamulondo.

“Waliwo abantu be tumanyi nga buli lwe basituka basekeeterera Bwakabaka era tugenda mu kiseera eky’okulonda naye be mugenda okulonda babeere bamnwe ddala era nsaba mulonde abantu abawa Kabaka ekitiibwa, abamumanyi era abamufiirako’ Minisita Kawuki bw’ayogedde.

Kaggo Hajji Ahmed Matovu Magandazi alaze nti waliwo obwetaavu bw’okunnyikiza empeereza z’abakulembeze ba Kyaddondo kuba empeereza za Ssaabasajja tezifaanagana nga mpeereza za bakulembeze balonde bbyo birimu ennono n’Obuwangwa. Ono asabye abo ababanguddwa okutwala bye bayize okugabanako ne bannaabwe okusobola okusitula embeera z’abantu mu Buganda.Hajji Musa Ssemambo Musoke omwami we ggombolola ya mukulu wa kibuga Makindye asabye Abaami b’eggombola bonna bajjumbire Bulungibwansi kuba ke kabonero akalaga nti Buganda yafuna obwetwaze.

Omusomo guno gwetabiddwamu Abaami b’Amasaza okuli Katambala Hajji Sulaiman Magala, Mukwenda Deo Kagimu, abamyuka ba Kaggo bombi kwossa n’Abaami b’Eggombolola 11 ezikola Kyaddondo.

LANGUAGE