Bya Pauline Nanyonjo
Kasangati – Kyaddondo
Omusomo gw’abakulembeze b’Obwakabaka mu Ssaza Kyaddondo gukomerekkerezeddwa era n’eguggalwawo Ssaabawawolereza w’Obwakabaka Owek. Christopher Bwanika.

Owek. Bwanika akubirizza Abaami ba Kabaka okuteeka mu nkola ebyo ebibasomeseddwa basobole okwekuumira ku ntikko mu nkola y’emirimu gya Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka. Alaze nti ennambika ebasomesedwa bagitwale nti nkulu nnyo kuba y’enyweza obukulembeze bwa Ssaabasajja era basaanidde okugiteeka mu nkola.
“Ntegedde nti musomeseddwa leero ku nnambika z’enkiiko mu gavumenti ez’ebitundu n’entuuza yaazo, mumanye nti ennambika eno ekwata ku buli mutendera gw’obukulembeze era kino kinyweza obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka, kale ennambika y’obukiiko y’entabiro y’obukulembeze” Owek. Bwanika bwanyonyodde.
Mu ngeri y’emu Oweek. Bwanika abasabye babeere n’enkiiko ez’enkalakkalira ezimanyiddwa minisitule ya gavumenti ez’ebitundu kubanga obukulembeze obunywevu era obunyikidde ku mitendera gyonna bwe busobola okutambuza enteekateeka zonna ezisobozesa okutuusa Buganda ku Ntikko.

Ssaabawolereza akubirizza Bannakyaddondo obutasirisa kuvuganya kwabwe mu nkola ya mirimu, “Kago mbasaba obuteeyibaala nti mwasinze naye mweyongere okukola ennyo n’okulongoosa era musale amagezi agabasobozesa okwekumira ku ntikko nga mwebuuza n’okukopa abalala bye bakola okusobola mmwe okunywerera eyo gye muli” Oweek Bwanika.
Enteekateeka zino zonna zikulemberamu emikolo emikulu egy’okujaguza olunaku lwa nga 8 ogw’ekkumi, Buganda lwe yafuna obwetwaze mu 1962 okuva ku bafuzi b’amatwale.