Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze nti Buganda si ggwanga lya bantu ba kikula kimu kyokka wabula ekuŋŋanya abantu ab’enjawulo, okusimbuliza bino kivudde ku nsisinkano y’akafubo gy’abaddemu n’Omumyuka w’Omubaka wa Pulezidenti mu Lubaga eyalondebwa pulezidenti nga 28 Kasambula 2025. Bano batudde mu Bulange e Mmengo.

Kamalabyonna alaze nti Buganda tesosola mu mawanga wabula ggwanga era eno y’ensonga lwaki n’abazungu baagisanga ntegeke bulungi nga yo ebeeramu abantu abenjawulo era wano alaze nti ebyokwerinda mu nsi zonna gwe musingi ogusobola okulakulanya ensi oba okugita kuba munsi omuli ebyokwerinda ebinywevu mubaamu eddembe.
“Buganda ebaamu abantu ab’enjawulo omuli n’ono Moses Ariho naye olina okumanya nti eby’okwerinda gwe musingi ogusobola okulakulanya ensi oba okugitta, ensi bw’ebaamu ebyokwerinda nga binywevu mubaamu eddembe kuba omuntu asobola okutambula emisana n’ekiro ate n’ekiro abantu basobola okukola emirimu gyabwe kyokka awatali mirembe tewaba nkulaakulana” Katikkiro Mayiga bw’anyonyodde.
Owek. Mayiga alaze nti gavumenti okukula abantu bateekwa okuba n’emirimu eryoke efune omusolo era awatali mirimu tewali musolo n’olwekyo ebyokerinda nsonga nkulu, ono alaze nti buli mawulire agawulirwa agekuusa ku kutulugunya abantu bafuna okutya wano wamulagidde obunene bw’obuvunanyizibwa bw’ayingiddemu.
Katikkiro taleseeyo ku mulaga bunene bwa kituundu kyamukwasiddwa “Mu kitundu kye baakukwasiza mulimu abantu ab’obuvunanyizibwa bangi nga babeera mu Lubaga; Ssaabasajja, Ssaabasumba, Ssaabalabirizi n’abalala omuli ne bifo ebikulu ennyo nga Olubiri, Bulange, Kasubi Butikkiro, amalwariro nga erye Mmengo ne Lubaga kale nga byonna bikulu ate nga mu kulaba okwange ndaba nga singa biba bikyankalanyizidwa bisobola okutabangula eggwanga”

Ku lw’ebiseera by’okulonda ebiri mu ggwanga, Katikkiro asabye ab’ebyokwerinda okweyisa mu ngeri esaanidde nga bakuuma abantu n’emirembe mu ggwanga n’ekiseera kino kiyitibwemu mirembe naddala bayise abali ku ludda oluvugamya mu ngeri ey’obuvunanyizibwa.
Ye ‘Deputy RCC’ wa Lubaga omuggya Ariho Moses asiimye nnyo Obwakabaka okutuusa enkulakulaana eri abantu okuyita mu kuwagira ebyenjigiriza by’eggwanga kuba omuntu bw’asoma eggwanga likyuka olw’obumanyifu bwe bw’afuna wamu n’ebyobulamu nga basomesa abantu okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya kakendeere oba wakiri okugwaawo mu biseera eby’omumaaso.
Ariho yeyamye nti baakutumbula ebyobulambuzi nga bbo be balambuzi abasooka okulambula ebifo byonna eby’obuwangwa okumatiza abantu b’ebweru nti si bya bulabe.Ensisinkano eno yetabidwamu akulira eby’okwerinda mu Bwakabaka Captain Christopher Lutwama ,ne Matovu Godrey DISO wa divizooni ya Lubaga.