
Abakirisito mu Ssaza ly’Ekereziya Masaka basiimye Katikkiro olw’obuweerezaabwe obuleese enkulaakulana mu bantu kati emyaka 12.
Ekibinja ekikulembera abakristo bano, kikyadde embuga okutuusa okwebaza kwabwe eri Kamalabyonna nga kino kikulembeddwa Musinyoli George William Lubega ne Ssaabakirisito Muky. Regina Kitaka.
Bano banokoddeyo ebintu eby’enkizo Katikkiro byalambise abantu ebikyusizza obulamu bw’abwe omuli; okulima e mmwanyi era kaweefube ono e keleziya yakifuula kiragiro buli Kigo kisimbe omusiri gw’emmwanyi kisobozese okuddukanya emirimu gy’Omukama, nabo bennyini okufuna ensimbi ezisomesa abaana, n’okubajjanjaba.
Bishop Serverus Jjumba, obubaka bwe bwetikkiddwa Msgr George William Lubega, agambye nti Katikkiro ataddewo polojekiti eziyingiza ssente mu bwakabaka era guno omukululo gwa kumujjukirwako.

Mu kwogera kwe, Katikkiro abeebazizza okumulowoozaako nti era kizzaamu amaanyi abantu okwebaza omuntu. Obuwanguzi bwe, Katikkiro abwesigamizza ku Katonda, ate n’Abantu abamuwa obuwagizi mu nteekateeka z’abatuusaako nebazissa okusobola okutembeta kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Katikkiro agamba nti Katonda amuwadde ebirowoozo byagabana ne Kabineeti ya Kabaka oluvannyuma ne bissibwa mu nkola, era Katonda amuwadde obulamu n’obukuumi newankubadde emirimu gikooya kulw’obuyinza bwa Katonda asobodde okugikola.
Yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumujja ku maviivi n’amuwa obukulu okumulamulirako Obuganda ekintu ekimutuusizza ku kitiibwa n’okumanyika mu Nsi yonna.
Abakulu bano bawerekeddwako Pookino, Oweek Jude Muleke.