Omuyimbi Cindy Ssanyu Asisinkanye Katikkiro Mayiga

Amawulire Aug 27, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyiddwa nga “Cindy” ne bannabitone abalala, akiise embuga okwanjulira Katikkiro ekivvulu kyategese ku lwokutaano nga 29 kyatuumye “Royal Experience ” e Lugogo.

“Obwakabaka tuli ku mulimu okulaba nga bannabitone bakitegeera nti guno mulimu” Katikkiro Mayiga

Katikkiro ategeezezza nti okufuna mu kintu kyonna oteekwa okukiwa obudde nga Cindy bwakola era abantu okusiima omuntu ne bamuyaayanira okumala emyaka 20 sikyangu, era kyetaaga okubaamu obumalirivu, n’okwewaayo okusobola okumalako.

Kamalabyonna Mayiga ategeezeza abayimbi abato nti bw’olaba omuti gw’omuyembe nga bagukuba enkonyogo omanya nti gubaze, bwatyo abakubirizza obutapapa kwagala ttuttumu wabula bakole mu kugumiikiriza bajja kuganyulwa mu mulimu gwabwe.

Cinderella Sanyu asabye abantu ba Kabaka obuwagizi era n’abasuubiza okubasanyusa nga bwekisaanidde nga akozesa obukugu n’obukodyo bw’afunye mu myaka 20 mu kisaawe ky’okuyimba.

LANGUAGE