Tukwatire wamu tutaase Obuwangwa bwaffe

Amawulire Aug 27, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Abakulu okuva mu kitongole kya ASA Leadership Development Centre nga bakulembeddwamu Omulabirizi Dr. Steven Ssempala, bakiise embuga okutandika ku kaweefube w’okubangawo enkolagana n’Obwakabaka ku nsonga z’okukuuma obuwangwa n’ennono mu bantu okwetoloola ssemazinga wa Africa wamu n’okuyiga engeri Obwakabaka gyebusobodde okukuuma obuwangwa bw’abwo n’ebyobukulembeze ku mitendera egy’enjawulo.

Bano basisinkanye Minisita w’Obuwangwa, ennono n’Obulambuzi mu Bwakabaka, Oweek. Dr. Anthony Wamala era asanyukidde nnyo ebitongole eby’enjawulo ebyesowoddeyo okugatta ettofaali mu kukuuma obuwangwa, ennono n’okusomesa emiti emito n’ategeeza nti Obwakabaka bwatandika dda enteekateeka nga zino nga bulafuubana okulaba nga tewabeerawo kusaanawo kw’ensibuko y’Abantu.

Minisita Wamala yeebazizza nnyo ab’ekitongole kino n’abakuutira obutava ku mulamwa olw’ensonga nti ensangi zino abantu bangi basuddewo obuwangwa bw’abwe, ennono kwossa n’empisa ekireeseewo enkyukakyuka mu nneeyisa n’enkula y’Abantu.

Oweek. Wamala agamba nti Obwakabaka bwakutambulira wamu n’ekitongole ki ASA era ono abasabye okubaako n’obuwandiike bwe bakola obukwata ku nsonga y’ebyo bye batunuulidde.

Akulembeddemu abakulu bano Omulabirizi Dr Steven Ssempala, yeebazizza Obwakabaka olw’okukuuma obuwangwa n’ennono, n’okugunjula emiti emito era n’asaba Obwakabaka bubakwasizeeko okulaba nga bateekateeka omwana ku ssemazinga Africa ku lw’ebiseera eby’omumaaso.

Ekitongole kino kitambula mu mawanga ag’enjawulo nga kitunuulidde okusomesa emiti emito era kibangula abayizi nga kiyita mu kussaawo emisomo egy’enjawulo mu masomero agali ku mitendera gyonna okutuukira ddala ku matendekero aga waggulu.

LANGUAGE