Abakulira Amasomero g’Obwakabaka Basisinkanye

Amawulire Sep 19, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo, Kyaddondo

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asisinkanye ba Ssenkulu (abakulira) b’amasomero g’Obwakabaka mu Bulange e Mmengo.

Minisita Nakate bano abakalaatidde okwongera okunyweza enkolagana yaabwe kiyambeko okuyimusa omutindo gw’ebyenjigiriza mu masomero g’Obwakabaka, n’okwekubamu ttooci mu ntambuza y’emirimu mu masomero gonna.

Minisita Nakate era agamba nti ku mulundi guno batunuulidde nnyo engeri amasomero gano gye ganaayambagana obutabaako lirekebwa mabega mu nsonga z’okuyimusa omutindo.

Amyuka Ccansala wa Ssetendekero Muteesa I Royal University Omuk. Prof. Vincent Kakumba ayogedde ebimu ku masomero ga kabaka bye gatuuseeko naddala agali ku mutendera ogw’awaggulu. Ono era alaze obwetaavu bw’abazadde okuwererera abaana baabwe mu masomero g’Obwakabaka okuva ku mutendera gw’abaana abato okutuuka omwana bw’amaliriza okusoma.

Enkola y’okusisinkana eno ekolebwa emirundi esatu mu mwaka era yeetabwamu ba Ssenkulu b’amasomero gano okuli Muteesa 1 Royal University, Buganda Royal Institute of Business and Technical Education, Kasawo Technical Institute, Lubiri High School Mmengo, Lubiri High school Buloba, Bbowa Vocational Secondary School ne Lubiri Nnaabagereka Primary School.

LANGUAGE